
Bya Gerald Mulindwa
Wankulukuku – Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka eri Obuganda obusomeddwa Omulangira David Kintu Wasajja mu kisaawe e Wankulukuku mu lusiisira lw’ebyobulamu olukubiddwa ekitongole ki Kabaka Foundation mu kaweefube wa ‘Tubeere Balamu’
“Ekitongole kyaffe ekya Kabaka Foundation kitadde amaanyi mangi mu nsonga y’Obulamu era tukyebaza olw’enteekateeka eno eya ‘Tubeere Balamu Community Outreach’ egenderera okusembeza obujjanjabi eri abantu baffe yonna gye babeera” Kabaka Mutebi II.
Omuteregga akubirizza abantu okujjumbira ennyo ensiisira z’ebyobulamu okusobola okulwanyisa endwadde ez’enjawulo omuli; mukenenya, kkookolo ow’engeri ez’enjawulo n’endwadde endala. Ategeezeza nti ensiisira z’ebyobulamu mu nteekateeka eno zigenda kutuusibwa ne mu masaza amalala, obujjanjabi butuuke ku bantu be.
“Abasajja mutera nnyo okugayaala okwekebeza Prostate Cancer, n’endwadde endala ezitta abantu olw’okugayaala okugenda mu ddwaaliro, tweyunire nnyo abasawo ku nsonga y’obulamu n’okwekebeza” Kabaka Mutebi II.
Omuteregga yebazizza abasawo abakwatagana ne Kabaka Foundation mu kujjanjaba abantu be okuyita mu kaweefube wa Tubeere balamu. Mu ngeri y’emu yebazizza ne Bannaddiini abakunga abantu okujjumbira enteekateeka eno era abasabye okwongera okutambulira awamu ne Kabaka Foundation.
Nnyinimu azzeemu okujjukiza Obuganda okwewala obulwadde bwa mukenenya naddala nga beekebeza okusobola okumanya bwe bayimiridde, kyokka kino asabye kireme kukoma ku Mukenenya yekka wabula n’endwadde endala. Wano akubirizza n’abalwadde obutava ku biragiro by’abasawo.

