Bya Musasi waffe
Ng’ekirwadde kya senyiga ekimanyiddwa nga Coronavirus kyongera okugoya abantu mu nsi yonna, minisita avunanyizibwa ku by’obulamu ategeezezza eggwanga nti Bannayuganda abalala munaana bazuuliddwa nga kyabayoola.
Dr Jane Ruth Aceng, agambye nti olwaleero baakebedde abantu 35 kubbo munaana ne guzuulibwa nga gulina ekirwadde kya COVID-19.
Bano bonna ekirwadde kiteeberezebwa nti baakijje Dubai gyebaabadde bava.
Kino kitegeeza nti omuwendo gw’abantu abalina senyiga ono guweze mwenda.
Ku Lw’omukaaga sabbiiti ewedde, Uganda yalangirira nga bweyali ezudde omuntu omu okuba ne COVID-19.
Ono omutuuze w’e Kibuli ajjanjjabibwa mu ddwaliro Entebbe.
Aceng yasabye abantu bonna abaabaddeko e Dubai munnaku eziyise, okwewaayo mu mikono gy’ab’ebyobulamu bakeberebwe oba tebalina kirwadde kino.
Minisita era yagambye nti abantu 2661 bebabadde mu kalantiini oluvanyuma lw’okuva mu mawanga agalimu Coronavirus.
Kubano, 1305 ennaku za karantiini 14 baazimazeeko era nekizuulibwa nga tebalina Coronavirus.
Ekirwadde kya COVID-19 ekyabalukawo ku nkomerero y’omwaka oguwedde mu China kyakakwata abantu 379080 wamu n’okutta abasoba mu 16,000 mu nsi yonna.