Kampala
Omuwendo gw’abakyala abalongoosebwa nga batuuse okuzaala guli waggulu nnyo n’ogwo ogwateekebwawo ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu, ekimanyiddwa nga ‘World Health Organisation (WHO).’
Okusinziira alipoota efulumizibwa Minisitule y’ebyobulamu buli mwaka, ekitundu kiramba ku bamaama abatwalibwa mu malwaliro g’obwannannyini okuzaala, balongoosebwa.
Bino biri mu alipoota eno eyafulumiziddwa olunaku lw’eggulo aba Minisitule y’ebyobulamu.
Alipoota eraga nti ebitundu 51 ku buli 100 ku bakyala abatwalibwa mu ddwaliro lya St. Francis e Nsambya, balongoosebwa ate ng’omwaka omuwendo ebitundu 72 ku buli 100 ku bakyala abatwalibwa mu ddwaliro e Nakasero, nabo balongosebwa.
Ebifulumiziddwa biraga nti omuwendo gw’abalongosebwa mu ddwaliro e Mengo ne Lubaga nagwo guli waggulu ku bitundu 47 ku buli 100, ne 41 ku buli 100
Omukungu wa Minisitule y’ebyobulamu, Dr. Henry Mwebesa yagambye nti, “Omuwendo gwabalongoosebwa mu malwaliro g’obwannannyini n’agatali guli waggulu. Mu malwaliro gavumenti omuwendo kukkiridde okuva ku bantu 35 ku buli 100 ne gutuuka ku bantu 34 ku buli 100.”
Dr. Mwebesa yannyonnyodde nti omuwendo gw’abakyala abalongoosebwamu abaana mu ggwanga lyonna gukendedde ebitundu 7 ku buli 100 okuva ku bantu 49,369 mu mwaka gwa 2018/2019 ne gukka ku bakyala 45,806.
Wabula amalwaliro okuli; Mubende hospital, Hoima hospital, Fort Portal hospital ne Mulago Specialized Women’s and Neonatal Hospital, abakyala abalongoosebwamu abaana, gweyongera ebitundu 2 ku buli 100.
Okusinziira ku Alipoota eno, eddwaliro lye Gulu lye lirina omuwendo ogusembayo okubeera wansi n’ebitundu 12 ku buli 100 mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2019/2020.
Minisita w’ebyobulamu ebisookerwako Dr. Joyce Kaducu, yategeezezza nti omuwendo guno gwetaaga kunoonyerezaako bamanye lwaki guli waggulu.
Dr. Kaducu yannyonnyodde nti omuwendo guno gwandiba nga gujja lw’abamu ku bali embuto okusindikibwa mu malwaliro amanene oluvannyuma lwa Health Center IVs okulemererwa naye n’asuubizza okunoonyereza ku nsonga eno.
Ekitongole kye nsi yonna kyalambika nti omuwendo gw’abakyala abalongoosebwamu abaana gulina kubeera wakati wa bakyala 10-15 ku buli 100 mu buli ddwaliro.
Aba WHO bagamba nti okulongoosebwamu omwana, maama alina kusooka kulemererwa okuzaala bulungi.