Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kira aggalidde omuwala Kafta eyalabikira mu katambi nga akuba mukwano gwe eyeeyita Pretty Nicole nga amulanga okumwagalira omusajja.
Bw’abadde awa ensale ye Omulamuzi Esther Nyadoi ategeezezza nti ebikolwa bya Kaftah Queen ow’emyaka 18 nga muyizi ku ssomero lya Trinity College Nabweru si byabuntu era tebyetaaga kukkirizibwa mu nsi.
“Ekibonerezo kino kyakutangira awamu nabawala abato abali ebweru eyo. Njagala obeere eky’okulabira nti ebikolwa by’okutulugunya abantu tebikkirizibwa. Nkusibye emyaka 3,” Omulamuzi Nyadoi bw’agambye.
Omulamuzi annyonnyodde nti wadde yawulidde okusaba kwa Kafta akenderezebwe ku kibonerezo okusobola okudda ku ssomero kuba yabadde ategedde ensobi ye naye abadde alina okubeera eky’okulabirako eri abantu abatulugunya bannabwe.
Okusooka, Pretty Nicole ow’emyaka 14 yabuuziddwa oba asobola okusonyiwa Kafta naye nagaana nga agamba nti yakozesa obukambwe bungi nga amutulugunya era nga kino azze akikola.
Omulamuzi ategeezezza Kafta nga Nicole bweyasaba kkooti eggalire Kafta okumala emyaka 5 naye bamuwadde 3 kuba bakyali baana bato abalina ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu bwatyo nabasaba okukomya okulwanira abalenzi nga abadde alina okuggalirwa asobole okutereera.
Omulamuzi Kaftah emuwadde amagezi okujulira bw’aba tamatidde ku kibonerezo ekimuweereddwa era kino akikole mu nnaku 14 okuva kati.
Ono era alagidde Nicole atwalibwe mu maka gy’ asobola obudaabudibwa obulungi okutuuka nga ateredde bulungi asobole okudda ku ssomero.
Kafta yaggulwako omusango gw’okutulugunya ennyo omuntu ekikontana nakawaayiro 2(1) (b), 5(a) (h), (j) ne (k) ak’etteeka lya ‘Prevention and Prohibition of Torture Act 2012’.