Bya Jesse Lwanga
Mukono
Ebitalo bigudde mu bawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform mu Mukono North, omu ku bannabwe eyali yabula okumala akaseera bwasangiddwa nga yafa omulambo gwe negusuulibwa mukibira kya gavumenti ekisangibwa e Kifu mu Kyampisi.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/01/Poliisi-nabatuuze-nga-bateeka-omulmabo-gwa-Ssemakula-ku-kabagali-ya-poliisi..jpg)
Omugenzi ye Rogers Ssemakula ow’emyaka 36 nga mutuuze we Kiyunga nga kigambibwa nti yabadde akulira abavubuka ba Ghetto mukitundu kino. Kigambibwa nti Ssemakula yafa mukiro ekyakeesa olunaku lw’okulonda Pulezidenti n’ababaka bapalamenti.
Omulambo gwa Ssemakula gwazuuliddwa omulaalo abadde alunda ente era nga gubadde gutandise okuunda.
Abatuuze balumirizza nti ono y’omu ku bantu abazze bawambibwa abantu abatambulira mu mmotoka y’ekika kya ‘Drone’ etaliiko nnamba era nga babadde bamunoonya okumala ennaku eziwerako.
Isma Byekwaso nga abadde awangaala n’omugenzi agamba nti, Rogers abadde omuntu atalina buzibu bwonna nga abadde akola mirimu gwa kukuba matoffaali ssako okutunda enku nga n’ebyobufuzi abadde tabiriimu nnyo okuggyako okuwagira Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Namwandu w’omugenzi, Nampijja Zalfa kyokka nga babadde tebabeera wamu ategeezezza nti yasembayo okubeera ne bba nga 13 namuwa nakakonge ke ng’amukuutira okugenda okulonda kyokka byamusobera bwatamulabako mu kulonda era nga okuva olwo babadde bamunoonya.
Ono amulekedde abaana babiri abalenzi ku myaka musanvu n’etaano.
Omubaka w’ekitundu kino omulonde, Abudallah Kiwanuka ategeezezza nti bamaze batutte omusango ku poliisi era nga basuubira kkooti okutandika okuwulira omusango gwabwe ku lunaku lw’enkya.
Ono agamba Ssemakula y’omu ku bantu abasoba mu 10 abaze bawambibwa mu ssaza lino nga agamba nti ekizibu kyava ku byabufuzi wakati we ne Minisita w’amazzi Ronald Kibuule.