Bya Ssemakula John
Kibuli
Poliisi ekakasizza nti, omutwe gw’omuntu ogwakwatiddwa n’omuvubuka ku Palamenti nga agutwalira Sipiika Rebecca Kadaga, gukwatagana n’ekiwuduwudu ky’omwana omuwala ekyasangiddwa mu kibuga Masaka.
“Tukebedde Endagabutonde amakya galeero ku Lwokubiri netukizuula nti, ebitundu bino bya muntu omu era nga naba famire nebakakasa nti ono muntu wabwe,” Omwogezi w’ekitebe kya Bambega Charles Twiine bweyategeezezza.
Kino kiddiridde Omuvubuka Nuwashaba Joseph 22, okukwatibwa mu mulyango gwa Palamenti n’omutwe gw’omuntu nga agusibye nga ekirabo nga agezzaako okugutwalira Sipiika Rebecca Kadaga.
Twine yagambye nti, kati bagenda kukozesa abakugu baabwe balabe oba Nuwashaba yaliko mu kifo ewasangiddwa ekiwuduwudu n’ekifo omwana weyattiddwa.
Yagasseeko nti, Nuwashaba bagenda kumutwala akeberwe omutwe okulaba oba omutwe gwe mulamu bulungi kuba kyeyakoze ssi kya buntu.
Twine yanyonyodde nti era bagenda kunoonya balabe oba ono yali yenyigiddeko bikolwa byonna eby’obutemu.
“Twagala okumanya oba yali yenyigiddeko mu bikolwa by’okusaddaaka abantu, bwekiba kituufu tumanye bakolagana nabo,” Twine bweyalambise.
Ebizuuse ku muvubuka ono Nuwashaba, biraga nti abadde abeera ne famire y’omugenzi mu bitundu bye Masaka okuva ku ntandikwa y’omuggalo.
Kigambibwa nti ku lunaku lwa Ssande, Nuwashaba yasabye omwana ono Faith Kyamagero ow’emyaka ettaano amuwerekereko era okuva olwo tebaddamu kumulaba.
Bano oluvanyuma lw’okunoonya omwana akabanga, bagudde ku kiwuduwudu kyebagamba nti kya Kyamagero, muwala wa Ssenyonga omutuuze mu Buddu nga kisuuliddwa okuliraana essengejjero lya National Water and Sewerage Corporation erissangibwa mu kibuga Masaka.
Ku lunaku lwa Mmande nga ab’enju ya Ssenyonga babadde bategeka okuziika nebalaba ebifananyi ku mutimbagano nga biraga Nuwashaba nga akwatiddwa n’omutwe gwebagamba nti gwa Kyamagero.
Bano olwakakasizza nti omutwe nga gwa muwala wabwe kwekusalawo okusooka okuyimiriza eby’okuziika era nga kati balinze poliisi ebawe omutwe gw’omwana wabwe aziikibwe.