![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Amakula-1024x683.jpeg)
Musasi waffe
Enkya ya leero Mukyala Deziranta Namwanje okuva mu ggombolola ya Mut II Bukomero akiise embuga n’aleeta amakula nga nkota z’amatooke 100 okuva mu lusuku lwe.
Amakula gamutikkuddwa Owek. Prosperous Nankindu n’amutendereza olw’omwoyo gwa Buganda ogutafa. Owek. Nankindu yebazizza Muky. Namwanje olw’okwagala Kabaka we mu bikolwa n’agamba nti abantu bangi boogera bwogezi nti baagala Kabaka naye nga tebakiraga mu bikolwa.
Ategeezezza nti guno gwe mulundi ogusoose omuntu omu okwewaayo n’aleeta Amakula bwa nnamunigina kyokka n’asobola okujjuza emmotoka ennamba.
“Kino kikolwa kya kwerekereza era tukakasa nti olusuku amatooke gano mwe gavudde lujja kwongera okubala,” Owek. Nankundu bw’agambye.
Ye Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka Omuk. Moses Luutu ayongende okulambulula ennono y’amakula neyebaza Namwanje okugigoberera kubanga bino bye binyweeza Obwakabaka.
Muky. Namwanje agambye nti kimuwa essanyu okuddiza ku Ssaabasajja kubanga ettaka kw’alimira lirye era asuubizza okuleeetanga amakula buli bw’anaaba asobodde.
Awerekeddwako abakulembeze ku Ggombolola ye Bukomero nga bakulembeddwa Omwami w’eggombolola.