
Bya Ssemakula John
Buloba – Busiro
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, atenderezza omulimu ogwakolebwa musajjawe Omulangira John Baptist Robin Nagenda Mwesigwa mu kuzzaawo Obwakabaka wamu n’okuweereza Ekika kye obuteebalira.
Obubaka buno, Beene abutisse Omulangira David Kintu Wassajja ku mukolo gw’okuziika Nagenda e Bwotansimbi mu bitundu be Buloba mu Busiro ku Lwokubiri.
“Omugenzi yakozesa amagezi ge, obumalirivu, obuvumun’okwewaayo nga tuli mu buwang’anguse e Bungereza nga tulwana olutalo olw’okuzzaawo Obwakabaka n’enfuga egoberera amateeka mu Uganda,” Obumu ku bubaka bwa Beene bwebusomye.
Ssaabasajja Kabaka agambye nti Nagenda y’omu ku bantu abatono ennyo abasobodde okutuukiriza ekkatalo n’obweyamo bwabwe.
Ye Pulezidenti Museveni eyakiikiriddwa Ssaabaminisita Robinah Nabbanja yeebazizza Nagenda olw’okubeera olutindo olwamugatta ku Buganda era nalwana okulaba nti wabaawo enkolagana ey’amaanyi wakati wa gavumenti ne Buganda.

Mukyala womugenzi nga ye Marion Nagenda wamu nabaana bogedde ku mugenzi nti abadde abaagala ekitenkanika.
Omukolo gw’okuziika Nagenda gwetabiddwako Ssaabaminisita Robinah Nabbanja, eyaliko omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi, Omulangira David Kintu Wasajja, Minisita wa Buganda ow’Amawulire Noah Kiyimba, ababaka bapalamenti n’abakungu ab’enjawulo.
Oluvannyuma Nagenda aziikiddwa ku lusozi waggulu okuli ffaamu ye nakayumba keyazimba edda nalaama nti bwaliba afudde mwaba agalamizibwa.
Nagenda abadde munnamawulire omutendeka, ng’ afiiridde ku myaka 84 era abadde muwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’amawulire ekifo kyazzeemu emyaka egisoba mu 20.









