
Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Ekyoto Bbungu ky’e Kyoto ekivaako omuliro ogukoleeza ekyoto ggombolola nga Omulangira alidde Obuganda atuuziddwa, era mu nnono tekirina kuzikira. Obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ekyoto kino nga kyaka bwa Kika kya Nnyonyi Nnyange, ekikulemberwa Omutaka Mbaziira Frank Kisala.
Mu buwufu obwo Ssaabasajja Kabaka yatuma Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeeze ab’e Nnyonyi Ennyange baddemu okukuma ekyoto kino kiddemu okwaka olw’obukulu bw’akyo.
Olwa leero Omutaka Mbaziira, Frank Kisala, Katikkiro we, Kato Lutuuma ne bazzukulu be abali ku kakiiko akassibwawo okulondoola ensonga eno, basisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abatuusaako obubaka bwa Ssaabasajja obw’okuzzaawo ekyoto Bbungu.
Katikkiro Mayiga annyonnyodde nti ku kyoto Bbungu Kabaka kwe yasinziiranga okugaba entabaalo, era Buganda ey’ebiseera ebyo amaanyi gaayo gaali mu ntabaalo era amasaza agasinga gaava mu mafumu na nnyago, era entalo ezo zaali za byanfuna si mawanga nga abamu bwe boogera. Mu ntabaalo bajjayo amatale mwebaweesa obwambe, embazzi, amafumu, eby’obugagga ebiwerako, abakazi, Ente n’ebirala.
Katikkiro era ajjukizza abantu ba Buganda nti Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii bwe yali mu kiseera eky’okusomoozebwa teyeekubagiza, ekifudde Buganda ey’amaanyi olwa leero, era n’ategeeza nti ssi nga Obuwangwa n’Ennono mu Bika bitaataaganyizibwa, kyandiviirako abazzukulu okubuzaabuzibwa, olwo nebatandika okuwammanta ebyabwe.
Katikkiro w’Ennyonyi Ennyange Omulongo Kato Lutuuma, ku lw’Omutaka Mbaziira Frank Kisala, ategeezezza nti beetegefu okukola ekisoboka okulaba nga eky’obugagga kya Ekika ekisinga nga ly’Ettaka kissibwaako essira, kuba buli nkulaakulana kwetambulira.

Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, muzzukulu wa Mbaziira, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, nga ye muwanika w’Akakiiko akassibwawo okuzzaawo ekyoto Bbungu, ategeezezza nti agenda kutuukirira bazzukulu ba Mbaziira bongere okuwagira Ekika ky’abwe.









