Musasi waffe
Omutaka Nakigoye akulira ekika ky’e Kinyomo, Samson Nabbimba Lukabya olwaleero agattiddwa ne jjajja mukyala, Irene Nakayima Nabukeera ku Lutikko e Namirembe. Okugattibwakwe kwetabiddwako abantu bangi.
Mu bano mubaddemu baminista ba Ssaabasajja Kabaka abakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga, abataka abakulu ab’obusolya wamu n’abakungu okuva e Mmengo bangi. Oweek.
Mayiga asinzidde wano n’atendereza Nakigoye olw’okusalawo okuwasa kubanga muno mwemunaava okuzaala abaana abalungi abanaasobola okuzza Buganda ku ntikko.
“Okuwasa n’okufumbirwa nsonga nkulu nnyo eri ffenna naye ate bwekituuka ku mukulu w’ekika ne gujabagira kubanga ensonga y’okugattibwa n’okufumbirwa enyweza obuwangwa bwaffe. Kino kyebakoze kyakwaza ekika,” Mayiga bwagambye.
Ayongeddeko nti ekika ekitaliimu bantu bawera tekisobola kugundiira bulungi.
“Bw’ogatta obungi n’omutindo [gw’abantu] obeera ku ntikko. Bwetuwasa tuba tusuubira okuzaala abaana bongere okubuutikira Buganda eno kubanga ffe bannanyiniyo. Nkimanyi bulungi nti n’atawasizza azaala naye abaana abeesigika si beebo abazaaliddwa ku makubo,” Mayiga bwagambye.
Ow’omumbuga agasseeko nti ebimu ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu bw’abantu kwe kukola embaga ebeerawo omulundi ogumu mu bulamu bw’omuntu.
N’olwekyo nti kyetaagisa okukola okusalawo okutuufu okusobola obutejjusa.
Omulabirizi w’e Masaka Reverend Henry Katumba Tamale ayozaayozezza omutaka n’ejjaja mukyala olw’okusalawo okukola embaga entukuvu.
Asabye abafumbo okwewa ekitiibwa olw’obukulu bw’obufumbo.
“Olaba Beene ayimiriza emmotoka ze abagole bayitewo kitegeeza abawa ekitiibwa. N’olwekyo weewe ekitiibwa Omutaka wamu ne maama,” Rev. Tamale bwagambye.