
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka era omukulu w’Ekika Ky’ Ekkobe, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba ayongedde okukaatiriza obukulu bw’ Ebika mu Bwakabaka nga bisaanye okunywezebwa Buganda okugenda mu maaso.
Okwogera bino abadde ayanjulirwa Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko ne Katikkiro w’Ekika ky’ Endiga n’omumyuka we abaggya kwosa n’Omumyuka Asooka owa Katikkiro mu kika ky’ Enkima ku Lwokuna.
Omutaka Mutumba agamba nti buli lwetutanyweza bika byongera okusemberera ekiteeka ennono n’obuwangwa mu katyabaga.
Jjajja Mutumba akubirizza obuweereza bwebayingidde okubutambuliza ku buvumu n’obumalirivu okulaba nga ekitiibwa ky’ Ebika kiddawo mu mulembe guno ogusoomozebwa Tekinologiya n’enkulaakulana.
Abasabye okumanya obukulu bwe Ebika era agamba nti bino empagi enkulu era musingi gwa Buganda nga biteekeddwa okunnywezebwa.
Katikkiro w’Ekika kino Lwasi Eria ayanjuddwa nomumyuka we baweze okuweereza Ekika nobumalirivu okukinnyweza nokukuuma Nnamulondo.
So nga Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko agamba nti obuweereeza Obugya bwatandise essira wakulisa ku kulafuubana okukulaakulanya Ekika kyenyogere okuyitimuka n’okunyweza Obumu.
Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, awerekeddwako mukyalawe, abooluganda, wamu n’aboomu makaage.









