Bya Jesse Lwanga
Mukono – Kyaggwe
Omutaka wa Kasolya mu Kika ky’e Nvuma , Kyaddondo Kasirye Mbugeeramula Atanansiyo, avudde mu mbeera olw’abantu abamu okulemera ku muze gw’okwabizaawo ennyimbe ky’agamba nti kigenda kusaanyaawo obuwangwa.
Kyaddondo Kasirye yategeezezza nti abakola kino beekwese mu ddiini n’asaba buli asobola aveeyo avumirire ekikolwa kino.
Bino yabyogeredde ku kyalo Busegula mu ggombolola y’e Ngogwe mu ssaza lya Beene ery’e Kyaggwe ku mukolo gw’okwabya ennyimbe z’abagenzi; Nicholas Wasswa Lugoloobi ng’asikiziddwa Gita Herbert, Kabenge Rogers asikiziddwa Lugoloobi David.
Ono yabakuutidde okubeera abeetoowaze, basobole okukumaakuma bannaabwe ate babeere basajja bavumu, abatekkiriranya era abamaanyi, kibasobozese okuweereza ekika kyabwe ng’abagenzi bwe babadde.
Jjajja Kyaddondo era yeebazizza bazzakulu be bano olw’okutambuza olumbe mu nkola ey’ennono.
Ye Rev. Samuel Kakooza omusumba w’obusumba bw’e Ngogwe mu Bulabirizi bw’e Mukono eyasabidde abasika, yakubirizza abantu okukola ennyo bakomye okulwanira eby’obugagga ebirekebwa bakadde baabwe.
Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya, asiimye Bannakyaggwe olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka n’abasaba okwongeramu amaanyi.