
Bya Ssemakula John
Buvuma
Omutaka w’Akasolya k’ekika kye Nsuma, Kibondwe Ntembe Waswa II asabye abazzukulu okwetaba mu buli nteekateeka z’Ekika kiyambeko okunyweza Buganda nokugitwala mu maaso.
Bino Omutaka Kibondwe abyogeredde ku butaka bw’ekika e Kitamiro mu Buvuma gyebabadde bakungaanidde okumanyagana.
“Bannange okukung’aana gemaanyi, ekika kyaffe kyamanyi era kitambula temubaamu kutya kwonna tujja kugenda mu maaso bwetuba nga tujjumbira enkung’aana nga zino,” Omutaka Kibondwe bw’annyonnyodde.
Ono abasabye okunyweza ennono n’obuwangwa bagilwanirire era bafube okulaba nga bagitwala mu maaso so si kugivumirira kubanga Katonda yamanyi lwaki yabatonda nga Baganda era nabateeka mu bika ebyenjawulo.

Abamu ku bakulembeze abalonde abasibuka mu kika ky’Ensuma okuli ssentebe wa disitulikiti ye Buvuma, Wasswa Ddungu nowa Buikwe Jimmy Kanabi basabye abantu okunnyikiza obuwangwa n’ennono mu miti emito okusobola okutwala ekika mu maaso.
Bbo abazzukulu beebazizza abatwala ekika kyabwe olw’ensisinkano eno kubanga baliko bingi byebasobodde okuyiga era nga bakakasa nti bajja kusobola okunyweza obumu n’okumanyagana.
Wano Kayima agamba ng’ Ekika basazeewo okuddamu okusisikana nga abayizi bali mu luwummula ng’ ekirwadde ky’ Ebola kiweddewo kisobolese abazzukulu bonna okusisikana.









