Bya Stephen Kulubasi
Ssingo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi asiimye emirimu egikoleddwa abadde akulira Ekika ky’Ekiwere, Luwonko Omubuze, James Mbaale Zzamuwanga bwategeezezza Obuganda nti Omutaka ono atuukirizza bulungi obuvunaanyizibwa bwe era akulembedde bulungi Abazzukulu. Ssaabataka era asaasidde Abakulu b’Ebika olw’okuviibwako muganda wabwe wamu n’abenju ye naddala Namwandu Ruth Nalumansi ne bamulekwa.
Nnyinimu asiimye obuweereza bw’abantu abajjanjabye Omutaka ebbanga ly’amaze nga mulwadde era namusabira Katonda omyoyo gwe agulamuze kisa. Obubaka bw’Empologoma bwetikkiddwa minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko
Ate mu bubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga obusomeddwa Owek. Chotilda Nakate, Mukuumaddamula ayozaayozezza abeddira Ekiweere olw’okufuna Jjajja omuggya era n’abakuutira okubeera obumu bakulaakulanye Ekika kyabwe . Ku lw’Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Akulira Ekika ky’Enkerebwe Omutaka Kidimbo Grace Bakyayita akuutidde Luwonko Omubbulukuse, Omutaka Alexander Basajjabaka Sserwadda okwewaayo okumanya emirimu emikulu egy’Abataka n’obutatiiririra Nnamulondo
Omutaka Mbaale Zzamuwanga aterekeddwa ku butaka bw’Ekika ky’Ekiwere e Ssingo ku kyalo Kasiinina, Ggombolola Mut. II Kasega