• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omusumba w’e Masaka akyaddeko e Mmengo, asiimye enkolagana Obwakabaka gyebulina n’Ekeleziya

Gambuuze by Gambuuze
March 5, 2020
in Amawulire
0 0
0
Omusumba w’e Masaka akyaddeko e Mmengo, asiimye enkolagana Obwakabaka gyebulina n’Ekeleziya
0
SHARES
18
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Omusumba Jjumba wamu ne Katikkiro mu maaso ga Bulange

Musasi waffe

Omusumba w’essaza ly’Ekeleziya ery’e Masaka, Serverus Jjumba enkya ya leero akyaddeko ku Bulange e Mmengo embuga enkulu ey’Obwakabaka bwa Buganda.

 Ono e Mmengo ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ngali wamu ne baminisita mu gavumenti ya Kabaka wamu n’abakungu abalala.

Mu kumwaniriza, Oweek. Mayiga agambye nti ng’Obwakabaka, baasanyuka nnyo Jjumba bweyalondebwa okuddira Omusumba John Baptist Kaggwa eyawummula omwaka oguwedde.

“Ebyenjigiriza wano mu Uganda tuyinza okugamba nti Buddu ekwata kisooka olwa masomero enkumuliitu, Omusumba Joseph Kiwanuka geyateeka kumpi ku buli kigo. Bw’okola ku by’obulamu neby’enjigiriza kumpi buli muntu oba omaze okumuteekateeka,” Mayiga bwagambye.

Mayiga agambye nti Omusumba Jjumba bamulinamu essuubi ddene era n’amusuubiza enkolagana ennungi ku lw’omubulungi bw’abantu Ekeleziya wamu n’Obwakabaka bwebaweereza.

Katikkiro ng’ayaniriza Omusumba Serverus Jjumba mu Bulange

Ajjukizza Omusumba nti essaza ly’avaamu ery’e Buddu kkulu nnyo si mu Ekeleziya mwokka wabula Obwakabaka wamu ne mu by’obufuzi bya Uganda.

Agambye ssaabaminisita wa Uagnda eyasooka Ben Kiwanuka, nzaalwa y’e Masaka, abalala mulimu Katikkiro Mayanja Nkangi, ne Joseph Mulwanyammuli.

Katikkiro era asiimye nnyo Omusumba olw’okwerekereza emirimu emingi nasalawo okugenda okubalamusaako olw’omukago gwebalina okukuza eggwanga eddungi

“Ennaku zino Obwakabaka bulina kaweefube w’obuntu bulamu naye tukimanyi awo Ekeleziya wesimbye. Bwetunaakolaganira awamu tujja kujjawo enjogera egamba nti Uganda bwetyo. Tetusobola  kukkiriza bintu bikyamu bitwalibwe ng’ebituufu olw’okuba ensi eyise mu bintu eby’enjawulo n’ekirowoozesa abantu nti obubbi, obugwenyufu n’ebirala ebifaanana bwebityo  bituufu,” Mayiga bwagambye.

Mungeri endala, Katikkiro era atangaazizza nti tewali kukoonagana wakati w’eddiini n’obuwangwa.

“Eddiini etunyweza mu buwangwa n’ennono zaffe. Sirowooza nti Yeezu yajja kudibya byamunsi muno. Bishop bwajja kabonero kanene nnyo akalaga nti eddiini, obuwangwa n’ennono abitegeera bulungi era kyakuyiga eri ffe ffenna,” Mayiga bwagambye.  

“Nebaza aba CBS ne BBS olw’enkolagana eno etuzzaamu nnyo amaanyi,” Jjumba bwagambye.

Mu kwogerakwe, Omusumba Jjumba abadde awerekeddwako ssaabakiristu w’eMutukula Regina Nalubega Kitaka, omubaka wa Kakuuto mu palamenti Kalemba Christopher, Everest Kayondo wamu n’omukungu Kiyimba Freeman, agambye nti basanyufu nnyo olw’enkolagana Obwakabaka gyebulina n’Ekeleziya gy’asabye okugenda mu maaso.  

Yagasseeko nti Obwakabaka, gavumenti yawakati wamu n’Ekeleziya enkolagana yaabwe siyakyeyagalire wabula eteekeddwa okubaawo kubanga baweereza abantu bebamu.

Asiimye Obwakabaka olw’okutumbula ekirime ky’emmwanyi n’agamba nti ddala kituufu emmwanyi terimba.

“Ekigambo kino nagamba nti kiteekeddwa okussibwako omulaka; amaka gafune omulimu oguyingiza essente era akabonero kaffe mmwanyi,” Jjumba bwagambye.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.