• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omusomo ku Nnono, Obuwangwa n’Empisa

Gambuuze by Gambuuze
October 25, 2025
in Amawulire
0 0
0
Omusomo ku Nnono, Obuwangwa n’Empisa
0
SHARES
326
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nanyonjo

Mmengo-Kyaddondo

Amaka y’emmerezo y’Obuntu gwe gubadde omulamwa ogutambuliziddwako emisomo gyonna egisomeseddwa mu Lubiri e Mmengo mu musomo ku nnono obuwangwa n’empisa ogwategekeddwa Abataka Abakulu Ab’obusolya 2025 ogwagenderedwamu okusomesa abazzukulu ku bukulu bw’amaka ku Mulembe guno Omutebi.

Msgr. Gerald Kalumba y’aguddewo omusomo guno ku lwa Ssaabasumba alaze obukulu bw’omulamwa ‘Amaka emmererezo y’obuntu’ ng’agamba nti amaka ly’ebbanguliro erisooka olw’ebigambo ebyenjawulo ebigutambulirako “amaka kintu kya kitiibwa kuba naffe mu kkereziya amaka tugassaamu nnyo ekitiibwa era gwe musingi gwaffe mwe tusookera, kkereziya eyaffe esookera mu kulaba nti amaka gano ly’ebanguliro erisooka kuba buli muntu mw’atandikira n’alyoka atandika obuweereza’ Msgr. Kalumba bw’anyonyodde.

Msgr. Kalumba alaze okuyayanira kwe eri buli maka okuddamu okubeera emmerezo erungiddwamu ebirungo ebisanidde omuntu okukula obulungi ate n’okussaamu ebiriisa ebiyamba omuntu okubeera omuntu mulamu “Ebizibu ebitawanya amaka bingi naye ebisinga obungi si byeyagalire nti abantu baagala bibeere bwe bityo naye embeera ze nsi zikyusiza enkola emanyikidwa wano abangi mwetwakulira nga okukula n’abazadde’ Msgr Kalumba bwategezezza.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo y’atuusizza obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka obugaddewo omusomo, Ssaabataka akubirizza Abataka Abakulu b’Obusolya okukubirizanga bazzukulu baabwe obukulu bw’amaka nga bannyikiza ennono, obuwangwa n’empisa mu bantu.

“Enteekateeka zonna mu buli kika ziteekeddwa okutegekebwa nga essira liteekebwa mu kuggyayo obukulu bw’amaka mu kukuuma ennono, Obuwangwa n’empisa. Kino kijja kuyamba abantu baffe okumanya n’okwewala ebireeta obutabanguko mu maka nga beesigama mu kunyweza Ennono” Kabaka Mutebi II.

Ku lwa Katikkiro, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, ku mulamwa gw’olunaku anyonnyodde nti amaka gateekwa okuba amagumu kuba gwe musingi oguvaamu abantu abanaagasa ensi okusinziira ku nneeyisa gye baba nayo.

Ye Omukibiriza w’olukiiko lw’Abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba alaze nti omulamwa gw’omwaka guno gwava ku bazzukulu baabwe abalina enyonta okumanya ku nkuza y’abaana mu maka ennungamu olw’okuba nti nabo tebaakuzibwa mu maka malungi kyokka nga nabo kati bassemaka. Ono amaka agagersgeranyiza ku nnimiro ento kuba oluvannyuma lw’ebimera bigibwamu ne bitwalibwa mu nnimiro enkulu nga kino akiraze nti bwebatyo n’abaana bwebava mu maka ne bajja mu nsi.

Ye Minisita w’Obuwangwa n’ennono mu Bwakabaka Anthony Wamala alaze nti waliwo obwetaavu bw’obukumanyisa abantu kw’ebyo bye balaba nga ebyayitako olwo lwe banaasobola okutereeza amaka gaabwe. Ono ayongeddeko nti kisaanidde okumanyisibwa nti obuwangwa kintu kigazi era kya muwendo nnyo eri buli muntu n’amakulu ameekusivu mangi ennyo agalimu.

Minisita Wamala akunze abantu bonna okuddayo mu bika ne famire zaabwe okusobola okudda mu kubo ettuufu so ate asabye buli eyetabwe mu musomo guno okubunyisa ebyo bye bayize.Simon Ssenkaayi, omu ku basomeseza akinoganyiza nti ennono mu Buganda esoboka okuddizibwawo singa buli omu anoonya obuwangwa bwe nga abakulu bayamba ku baana be bazadde kyokka nga terabidde buntubulamu naddala abazadde abakyala abetikka abaana abo kuba babayigirako kumpi buli kimu nga babazadde.

Mu kitundu ky’omusomo ku maka n’obuwangwa nga gusomesedwa Rev Faaza Gerald Yiga anyonnyodde amaka nga amakkaliro omuntu yena mw’akkalira n’atambuza obulamu. Ono era asabye abaganda okwagala olulimi, eddiini n’obuwangwa bwabwe nga kino akijjuliza Paapa Paul VI bwe yajja mu Uganda yakubiriza abakkiriza obutayawula buwangwa bwabwe na nzikiriza zaabwe.

Sserwanga Kyambadde Sulaiman nga naye asomeseza ku mulamwa g’omusomo asabye Abaganda okusoosowaza obuwangwa bwabwe kuba bwe basooka okuzalirwamu okwawukanako n’eddiini ezajja oluvannyuma.

Ssaalongo Kizito Tabula amanyiddwa nga Vj Jjingo y’abadde omugenyi ow’enjawulo era ono asiimidwa Abataka Abakulu ab’Obusolya olw’obuyiiya n’okunyweza olulimi oluganda mu bantu nga avvunula firimu mu Luganda.

Omusomo guno gwetabiddwako abagenyi ab’ebikonge bangi kwossa abazzukulu okuva mu bika bya Buganda byonna era n’ekitabo ‘Amaka’ ekyawandiikiddwa Abataka lwe kifulumizidwa.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.