Bya Huzairu Jjuuko Wasajja
Mmengo – Kyaddondo
Abaluŋŋamya b’emikolo bakubiriziddwa okwongera omutindo mu mulimo gwabwe ogw’okulungamya emikolo nga banyweza ennono n’obulombolombo obutambulira ku mikolo gy’obuwangwa okuli okuwangula n’okukyala.

Obubaka buno bubaweereddwa Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba bw’abadde aggalawo Ssemasomo w’abaluŋŋamya b’emikolo ow’omulundi ogwomukaaga ayindidde mu Bulange e Mengo.
Omutaka Nnamwama akubiriza abaluŋŋamya b’emikolo okunyiikira okukuuma ekitiibwa ky’Obwakabaka nga bakola ebyo ebitaweebula mpisa na nnono za Buganda.
“Woofiisi gye nkulembera eya Abataka ekoze obutaweera okulaba nga tukuuma empisa wamu n’ennono zaffe eza Buganda n’olwekyo twongera okukubiriza mmwe abaluŋŋamya b’emikolo abatendekeddwa obutagisuula muguluka” Omutaka Nnamwama.
Jjajja Nnamwama akalaatidde abaluŋŋamya bano okuggya katemba mu mulimo gwabwe ogw’okuluŋŋamya emikolo nga beewala ebyo ebitattana ekitiibwa ky’emikolo.
“Buli lw’okola omukolo ogw’ekitiibwa naawe kennyini ojja kufuna ekitiibwa ate tokoma okwo n’abo b’okolera omukolo nabo ojja kuba obaweesezza ekitiibwa n’abantu bonna abazze ku mukolo kubanga ggwe abeera nnyini mukolo gwonna”, Omutaka Nnamwama.
Omutaka era awabudde abaluŋŋamya nti nga tebanasitula mutindo mu nkola yabwe ey’emirimu, basooke balinyisse omutindo mu ndabika yaabwe, mu njogera ne mu bintu ebirara era n’ababuulira enjawulo eri wakati w’okwogerera omukolo n’okuguluŋŋamya.
“Omuluŋŋamya ggwe kennyini ssooka olinyise omutindo gwo ate tewetaaga bintu bya bbeeyi nnyo naye wetaaga okubeera omuyonjo, wetaaga okwambala obulungi, omwogezi ye ayogera bwogezi ekyo ekimujidde naye ate omuluŋŋamya akozesa ku bwongo era eyo y’ensonga lwaki tubakubiriza okulinyisa omutindo”. Omutaka Nnamwama.
Ssemasomo ono ayindidde ennaku bbiri era nga yaggulwawo Jjajja w’Olulyo Olulangira, Omulangira Basajjansolo ng’akiikiridde Minisita w’Obuwangwa Owek. Dr. Anthony Wamala, ono ategezezza nti abaluŋŋamya kibakakatako era kkatala lyabwe okukuuma ennono kisobozese okukuuma ekitiibwa kyensi yaabwe n’okuzza Buganda ku ntikko.
“Mwe abaluŋŋamya b’emikolo kkatala lyamwe okutuukiriza ennono n’obulombolombo mu butuufu bwabwo ensi yaffe esobole okuddamu emirembe, njogera bino kubanga ndi wa nnono era ssikiriziganya na muntu avvoola kitiibwa na bolombolombo bwaffe” Basajjansolo.
Basajjansolo era asabye abo bonna abasomeseddwa okuteeka mu nkola ebyo ebibayigiriziddwa ate n’obutanyooma na kutyoboola mulimu gwabwe kisobozese okuweesa Obwakabaka ekitiibwa n’okuzza Buganda ku ntikko.
Kinajjukirwa nti Ssemasomo ono yatandikibwawo Obwakabaka bwa Buganda era yatongozebwa Kamalabyonna wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga mu Mutunda wa 2022, Ssentebe w’Abaluŋŋamya b’emikolo omwami Kajja Isma, alambuludde obukulu bwa Ssemasomo ono, gw’agambye nti aluubirira okunnyikiza ennambika entongole eri ku mukolo gw’okwanjula, okuggyayo ensonga ssemasonga ey’obumu mu baluŋŋamya wamu n’okwongera obukugu mu bbo.
Ssemasomo ono yetabiddwamu abaluŋŋamya amakumi ana (40) nga bavudde mu masaza ga Ssaabasajja Kabaka agenjawulo, era basuubirwa okuzzaayo obubaka eri bannaabwe bwe bakola omulimu guno, buli eyetabyemu aweereddwa satifikeeti ekakasa nti abanguddwa

Obwakabaka bwa Buganda mu kiseera bubangudde n’okuwandiisa abaluŋŋamya b’emikolo abali mu lukumi mu bina mu kkumi na mwenda (1419).









