![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/01/Anguma-1024x767.png)
Bya URN
Kkooti ya magye nga
ekubirizibwa ssentebe waayo, genero Andrew Gutti, olwaleero eyimbudde ku kakulu
kaayo, omusirikale wa poliissi eyali aduumira ekitongole ekikwasisa empisa Joel
Anguma. Ono eyimbuddwa n’abasirikale abalala babiri okuli James Migadde ne Amon
Kwarisima abaali abakessi.
Bano bayimbuddwa ku kakulu ka kkooti ka bukadde 10 nga
nababeeyimiridde basabiddwa obukade 20 obutali bwabuliwo. Gutti bano era
abataddeko akakwakulizo kabutafuluma wabweru wa Kampala ne Wakiso okuleka nga
bafunye olukusa lwa kkooti. Ssentebe Gutti abuuzizza Anguma amuddiremu oba ategedde
obukwakulizo buno, naye kyakoze, ekisanyusizza ennyo Guti. Munnamateeka wabawawaabirwa
munamagye, Silas Kamanda Mutungi yategeezezza
kkooti nti bano balina amaka era nga kkooti esobola okubafuna wonna weeba
eyagalidde ssaako okuba n’ababeeyimiridde ab’omuzinzi. Anguma yaleese Felix
Okot Ogong, omubaka akiikirira Dokolo South mu palaamenti, Joy Atim Ongom omubaka omukyala
akiikirira Lira, saako James Akena, akiikirira
ekibuga kya Lira.
Abasatu bano baakwatibwa mu 2017 kubigambibwa nti bakwatanga
Abanyarwanda nebabbazza ewaabwe mu bumenyi bwamateeka. Bano era kigambibwa nti
baasangibwa n’emmundu z’ekinnamagye.. Abalala abakwatibwa ne bano nga bbo
bakyali mu kawome kuliko, Nixon Agasirwe, Faisal Katende ne Abel Tumukunde.