Masaka
Poliisi ekutte musajja ekutte musajja waayo ali ku ddaala lya ‘Constable’ Moses Bitalabeho eyalumbiddwa nga akuuma emirongooti gya UBC e Bwala nebamubbako emmundu.
Abantu abatanategerekeka balumbye Bitalabeho nabamukuba nebadduka n’emmundu ey’ekika kya AK47 nga yabaddemu amasasi agasoba mu asatu.
Ebyakafunikawo biraga nga Bitalabeho bwayinza okuba nga yabadde atamidde mukaseera webamulumbidde nekimulemesa okwelwanako.
Omubaka wa pulezidenti mu Masaka Herman Ssentongo yagambye nti Bitalabeho bamaze dda okumukwata wadde mukiseera kino akyali muddwaliro gyali mukujjanjabibwa ebisago byeyafunye ku mutwe.
Ssentongo yasabye abapoliisi mu Masaka okubeera abegendereza kubanga emmundu bweggwa mu mikono emikyamu esobola okufuukira ekitundu kino ekizibu.
Ono yasabye abantu okuyambako nga bawaayo amawulire agasobola okuyamba okuzuula emmundu eno.
Bbo abatuuze basabye poliisi ekole buli kisoboka kubanga tebakyebaka okuva lwebakitegedde nti emmundu eno yabuze era nga esobola okukozesebwa mu bubbi.
Omwogezi wa poliisi mukitundu ky’e Masaka yategezezza nga bwebamaze edda okukwata abakazi babiri bayambeko poliisi mukunnonyerezza.
Abakwate kuliko; Harriet Akurut ne Hope Akansasira, abatuuze b’e Kimaanya mu Masaka era nga baliko ne Bitalabeho nga banywa mukaseera nga emmundu tenabibbwa.