Bya Musasi waffe
Minisitule y’ebyobulamu mu Ggwanga elangiridde nga omuntu omulala bwafudde ekirwadde ki COVID19. Kati omuwendo gw’abafudde guweze 6 okuva ekirwadde kino lwekyabalukawo.
Okusinziira ku Sitatimenti eyafulumiziddwa abaminisitule y’ebyobulamu ku Lwokutaano, eyafudde musajja nga mutuuze w’e Nateete mu Kampala, ono yatwalibwa mu ddwaliro e Lubaga nga 24th July 2020 oluvanyuma lw’okulaga obubonero bwa COVID19.
Minisitule eyongerako nga ono bweyayongerwayo mu ddwaliro e Mulago nateekebwa mukasenge k’abayi nga embeera ye etabuse.
Ebyembi ono yafudde eggulo ku Lwokuna. Mu ngeri yeemu minisitule egamba nti waliwo n’abantu abalala 31 abaakwatiddwa ekirwadde kino okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo okuli; Sironko, Wakiso, Bushenyi, Kisoro, Amuru ne Adjumani.