Bya Francis Ndugwa
Masengere
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, ategeezezza nti ekimu ku bintu ebivuddeko ebikolwa by’okuwamba abantu, okubatulugunya n’okulinnyirira eddembe ly’abantu, be bakulembeze abalemera mu buyinza ne batayagala kuwaayo.
“Janan ekyamuttisa kuba Amin yayagala okulemera mu bukulembeze, kwe kugamba gye weeyongera, ebibi bingi bibeerawo, abalala ne babisongako ate nga ggwe tokyabiraba. Ggwe bw’oba tokyalaba kibi ekyo vvaawo omulala addewo kuba kitegeeza nti oluddewo.” Omukubiriza Mugumbule bw’annyonnyodde.
Okuwabula bino, Owek. Mugumbule akuwadde asinziira ku mukutu gwa BBS Terefayina bw’abadde alambika ku buvunaanyizibwa n’obukulu bw’Olukiiko lwa Buganda wamu n’obulamu bwa Janan Luwum ku makya ga leero.
Ono awadde eky’okulabirako ky’eggwanga lya Kenya nga bano olwatereeza ekizibu ky’okukyusa obukulembeze, basobodde okutandika okukulaakulana.
Owek. Mugumbule agamba nti ensonga eno terina kukoma kuwandiikibwa mu Ssemateeka nga bwekiri e Uganda naye alina okugobererwa wamu n’okussibwamu ekitiibwa okukendeeza ku bizibu ebiri mu ggwanga.
“Singa wabaawo omukulembeze ajja n’agamba nti emyaka giigino etaano bwe ginaawera nze nga nvaawo omulala ng’addawo, tewali nsonga lwaki abalala bandiyaayaanye okuggyako omukulembeze aliko.” Owek. Mugumbule bw’alabudde. Owek. Luwaga agambye wadde entebe ewooma ng’eyali Pulezidenti Godfrey Binaisa bwe yagamba, naye entebe y’emu esobola okutung’ununa singa omuntu agiremerako.
“Singa omukulembeze abeera ow’enjawulo n’ajja mu nsi yattu Uganda, yandibadde atereeza ensonga y’okukyusa obukulembeze. Obuzibu obuli mu Uganda tewali bulala singa wabaawo omukulembeze azze n’agamba nti emyaka giigino ettaano bwe ginaawera nga nvaawo, tewandibadde bamusindiikiriza.Owek. Mugambule bw’akkaatirizza
Owek. Mugumbule agamba nti obuzibu bw’ebiriwo buva kukulemererwa kukyusa bukulembeze okuva ku mukulembeze omu okudda ku mulala
Ono alambuludde ku buvunaanyizibwa kw’Omukubiriza w’Olukiiko okuviira ddala ku mulembe gwa Kabaka Kintu era nga gwesigamiziddwa ku nnono wamu n’enkulaakulana era ebisalibwawo byonna mu nsi Buganda okuva edda bitambulira ku lukiiko luno.
Okusinziira ku Owek. Mugumbule agamba nti olukiiko lwa Buganda terulina ludda luwakanya era obuvunaanyizibwa bw’Omukubiriza w’Olukiiko kwe kulambika ku nteesa y’abakiise ab’enjawulo ku nsonga enkulu era balina amateeka amawandiike agagobererwa era lulina obukiiko obw’enjawulo obumulungula ensonga.
Ono agasseeko nti oluvannyuma lw’okuteesa, ebirowoozo byonna biweerezebwa ewa Ssaabasajja Kabaka n’ayongera okulung’amya ku nsonga ez’enjawulo.