Musasi waffe
Dr Riek Machar Teny omukyuka wa pulezidenti asooka owa South Sudan wamu ne mukyalawe era minisita avunaanyizibwa ku by’okwerinda, Angelina Teny bakebereddwa nebasangibwamu ekirwadde kya coronavirus.
Bano sibeebokka ku bakulembeze ba South Sudan abamaze okuyoolebwa.
Baminisita abalala musanvu okuli ow’ensonga za kabineeti Martin Eria Lomuro, ow’ebyobulamu Elizabeth Acuei Yol, ow’ensonga z’omunda muggwanga Paul Mayom Akec, ow’ensonga z’obutebenkevu bw’eggwanga Obote Mamur Mete, ow’ebyensimbi Salvatore Garang Mabiordit, wamu n’oweby’obusuubuzi Kuol Athian nabo bayooleddwa nawookeera.
Bonna bonna babadde ku kakiiko akaateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kino.
South Sudan yemu ku mawanga agaasembayo okuzuulibwamu obulwadde bwa coronavirus kyokka nga wetwogerera bino, abalwadde banaatera okutuuka mu 500.