Kabale
Eddwaliro lya Kabale Regional Refferal Hospital basiibudde omulwadde wa COVID19 eyaleetawo akasambatuko mu ddwaliro lino okukkakana nga abasawo abawerako batwaliddwa mu Kalantiini.
Hajji Bashir Abudallah yali yava e Kabale najja mu Kampala wabula bweyaddayo yazuulwa nga alina ekirwadde ki COVID19. Ono yatwalibwa mu ddwaliro lya Kabale Regional Refferal Hospital gyabadde ajjanjabirwa.
Bashir nga ye Ssentebe w’ekyalo kya Ruhita mukibuga kye Kabale era nga ye Imam w’omuzikiti gwa Rushaki era nga ye mulwadde eyasoose mu kitundu kino.
Akulira eddwaliro lino, Dr. Sophie Namasopi yategeezezza nti aba abasoba mu 156 be bagambibwa okuba nga bafuna ekirwadde okuva mu Imam ono.
Gyebuvuddeko, muwala wa Bashir naye yasangiddwamu ekirwadde kino era natwalibwa mu ddwaliro lyerimu.
URN