Bya Gladys Nanyombi
Lubaga
Munnabyafaayo era omutunuulizi w’ensonga z’ebyobufuzi Wasswa Lule, arabudde bannayuganda ku mulugube mu bannabyabufuzi wakati nga beetegekeera akalulu ka 202i nti guno gwe gwonoonye ebyobufuzi bye Uganda.
Bino Lule yabyogeredde mu mboozi eyakafubo gyeyabaddemu ne GAMBUUZE ku Lwokusatu lwa wiiki eno nategeeza nti abantu abasoba mu asatu bonna okuvaayo nga baagala kuyitira mu Lubaga South bagende mu Palamenti kiraga kuggwamu nsa.
Lule yanyonyodde nga omusimbi ogupokerwa ababaka ba palamenti n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo bwekiserebeza omutindo gw’abantu abeesimbawo nga buli alina akasente ke kati alowooza kuyingira bya bufuzi bamulonde.
“Abantu tebyalonda muntu agenda kutuusa bizibu byabwe eri bekikwatako wabula kati balonda oyo abagulira ku ssukaali ne ssabuuni olwo ye olumala okufuna kyayagala taddamu kulabikako eri balonzi okubabuuza nsonga ki ezibanyiga zebandyagadde oba olyawo zikolebweko,” Lule bweyalambuludde.
Ono yategeezezza nga abakulembeze tebakyalina budde bwakwogerako nababalonda era nga kino nga kino kisebengesezza enkulakulana ze bitundu wabula ono omusango wabula nategeeza nti guno gusinga balonzi kubanga tebamala kwetegereza muntu gwebalonda.
Lule yalaze nga ensonga y’okuvaayo okukulembera abantu bweri ennene nga terina kuzannyirwamu neyeewunya okulaba nga abantu abasoba mu 35 bonna bavuddeyo nga baagala ekifo ekirimu omubaka Kato Lubwama nategeeza nti wadde abamu ku bano obuyigirize obulagirwa mu ssemateeka babulina naye bayala nnyo era nalabula abalonzi okubeera abegendereza ku ani ggwe baanalonda.
Abantu ababadde bakeesowolayo okulamuza entebe y’ Omubaka Kato Lubwama mu kiseera kino kuliko; Aloysius Mukasa, John Ken Lukyamuzi , Eugenia Nassolo , Samuel Lubega Mukaaku ne Kennenth Male.
Abalala kuliko; Musa Mbaziira, Sadat Mukiibi, munnamawulireDean Lubowa Ssaava , Grace Nakanywagi, Masagazi, Junior Ssebalamu, Habib Buwembo,Isamail Ssemakula, Xavier Katabalwa, Kevin Nsubuga n’abalala bangi.
Omu ku bali mu lwokaano luno Lubega Mukaaku, yawagidde ensonga za Wasswa Lule nategeeza nga Uganda bwetakyalina bakulembeeze aalumirirwa bantu era kati mu by’obufuzi alinamu akasente yayitawo so ssi oyo alina ebirowoozo ebiyinza okugasa eggwanga.
Mukaaku yalaze nga abantu bwebaweddemu essuubi olw’obulimba obuyitiridde mu by’obufuzi era nakubiriza abakulembeze okufuna ekyo ekitono baleme kwesiiba mu kufuna binene ebibaviraako okulumya abantu ababatuma mu palamenti.
Ate yye munne bwebali ku mbiranye Aloysious Mukasa yanyonyodde nti wakyaliwo essuubi okufuna omuntu alumirirwa abantu.
Omutuuze mu Lubaga South Male Robin, yategeezezza nga bwatasobola kulonda muntu yenna nga talina kyamuwadde kubanga ebbanga lyonna lyamaze nga alonda mu bwenkanya wadde bawa akalulu bayitamu naye ekitundu kye tekirina kikyuukako.