Bya Musasi Waffe
Kampala
Ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kimaliridde okusikiza abo bonna abaajeemera ekibiina ne babaako obuvunaanyizibwa bwe batwala awatali kufuna lukkusa awamu n’abo abeesimbawo ku bwannamunigina.
Ensonda mu FDC zigamba nti abakulu amaaso bagatadde ku Muloodi wa Kampala, Erias Lukwago n’eyali omubaka wa Makindye East mu Palamenti, Ibrahim Kasozi, okudda mu kifo ky’omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina mu kitundu kya Buganda.
Kino kiddiridde munnakibiina ekyali mu kifo kino era eyali Mmeeya wa Lubaga, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo okulondebwa nga Minisita omubeezi ow’ebyamawulire ne Tekinologiya mu gavumenti ya Pulezidenti Museveni.
Okusinziira ku nsonda, ekibiina kya FDC tekinnasalawo ku babiri bano kuba abamu bagamba nti Ibrahim Kasozi ekibiina akiruddemu era amanyi ebintu by’omunda bwe bitambula ate ng’abalala bagamba nti Lukwago amusinza obuganzi mu Buganda.
Pulezidenti w’ekibiina kino, Patrick Amuriat, bw’atuukiriddwa tawakkaanyizza Ku kya bantu bano kubeera bamu ku balowoozebwako wabula agasseeko ng’ekibiina bwe kijja okutegeeza eggwanga mu bwangu ku kinaaba kituukiddwako.
Ono agamba nti nga Ssabbiiti ejja tennayita, ekibiina kijja kuba kimalirizza okulondako omuntu omu okudda mu bigere by’Owek. Nabbosa.
Okusinziira ku Amuriat, akakiiko k’ekibiina k’akulira kagenda kutuula ku Lwokutaano lwa wiiki eno, okulondako erinnya limu erinaaweerezebwa eri olukiiko lwa National Executive Committee (NEC) okukakasibwa.