Bya Ssemakula John
Wakaliga
Loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago aweze okulwanyisa ekibbattaka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo wamu ne bamafiya abaagala okumalako bannakampala eddembe lyabwe.
Bino Lukwago yabyogeredde mu makaage e Wakaliga ku Lwokusatu bwabadde atongoza kampeyini z’okuddamu okuvuganya ku bukulu buno nga ku murundi guno ali ku kkaadi ya FDC.
Omukolo guno gwetabiddwako Meeya wa Lubaga Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda wamu n’abakungu abalala bangi.
Lukwago alaze byagenda okutandikirako okukola singa addamu okulondebwa ku bukulu buno nga wakulaba nti bannakampala basigaza eddembe lyabwe.
Omuloodi Lukwago yasuubizza okulwanyisa obuli bw’enguzi, okukozesa obubi ssente z’omuwi w’omusolo wamu n’okulwanyisa bamafiya abaagala okweddiza ekibuga.
Ku murundi guno, Lukwago agenda kuvuganya n’Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Chameleone, Latif Ssebagala, Beatrice Kayanja ne Daniel Kazibwe amanyiddwa nga Raggae Dee.
Lukwago ekifo kino eky’Omuloodi akibaddemu okuva mu 2011 era nga okusooka yawangulira ku kkaadi ya Democratic Party (DP), wadde yamala nacankalana n’obukulembeze bwa Norbert Mao gwalumiriza okutambuza obubi ekibiina.