Bya Ssemakula John
Kampala
Omuloodi wa Kampala, Erias Lukwago, akomyewo mu ggwanga okuva mu ddwaliro lya Aga Khan mu kibuga Nairobi gya yali yagenda okujjanjabibwa.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/12/Omuloodi.png)
Lukwago yatwalibwa e Nairobi omwezi oguwedde oluvannyuma lw’okujjanjabibwa ekirwadde kya Alaje omukambwe. Ono yatuuse mu maka ge e Wakaliga mu ttuntu lya leero era ne balomba edduwa olw’obulamu bwe.
“Mpulira essanyu ninga azuukidde, kino kyongera kuva ku ntobo y’omutima gwange.” Lukwago alabise nga munafu bw’agambye.
Lukwago annyonnyodde ebyo byayiseemu oluvannyuma lw’okukeberwa mu ddwaliro e Lubaga era ng’abadde awulira obuzibu mu kussa.
Ono yakyalira abakugu mu by’okussa aba Ear Nose and Throat (ENT) era nga bano baamutegeeza nti ekizibu kya Aleja kino kiva ku kalifuuwa n’eddagala erinaabibwa mu ngalo okutta akawuka ka Ssennyiga Corona.
Omuloodi Lukwago agamba nti oluvannyuma yatuukirira Dr. Kizza Besigye eyakolaganira awamu ne badokita abalala abaamulagirira omukugu w’amawuggwe gwe yalina okulaba.
Embeera ya Lukwago yeeyongera okubeera obubi era n’atwalibwa mu ddwaliro lya Aga Khan era n’ateekebwa ku byuma okusobola okujjanjabwa era nga mu kiseera kino yali awulira bubi era ng’atya nti ayinza okufiirwa obulamu.
Bwe yabadde e Aga Khan, Lukwago yajjanjabiddwa abakugu abakuliddwamu munnayuganda Prof. Godfrey Lule, ono ne banne baazudde nti emisuwa gya Lukwago gyabadde ginafuye era nga yabuzeeko katono omusaayi gwe okwetukuta.
Lukwago yasinzidde ku bye yayiseemu n’asaba gavumenti eyongere okuteeka ssente mu by’obulamu kubanga ensonga lwaki abakugu tebaamulagirira kujjanjabwa wano lwa nsonga nti ebikozesebwa tebiriiwo.
ono Kati ayagala gavumenti esse ekitiibwa mu ndagaano ya Abuja Declaration eragira ensi ez’enjawulo okuteeka waakiri ebitundu 15 ku buli 100 eby’embalirira mu by’obulamu.
Ku butaka Lukwago ayaniriziddwa mmeeya wa Rubaga, Owek. Nabbosa Ssebuggwawo, omubaka Allan Ssewanyana, Omubaka Moses Kasibante, Omubaka Kato Lubwama n’abalala.
Lukwago we yalwalira yali yaakamala okuyimiriza okunoonya akalulu k’Obwaloodimmeeya oluvannyuma lw’okukwatibwa kwa munnakibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi era ng’ono yadde akomyewo nga tannaba kulangirira kuddamu kunoonya kalulu.