Bya Musasi waffe
Poliisi ya Kampala n’emirilaano etandise okunoonyereza ekyavuddeko omuliro ogwakutte ebisulo by’abayizi ku ssomero lya Uganda Martyr’s SS Namugongo mu Wakiso mu kiro ekyakesezza Olwomukaaga.
Okusinziiara ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano Luke Owoyesigire, omuliro guno gwatandise ku Lwakutaano ku ssaawa 6 ez’ekiro era nga bagulabidde ku kalina eriko ebisulo bya siniya ey’okubiri (S.2) ne siniya ey’okusatu (S.3).
Wadde nga abayizi baali basindikibwa eka olw’ ekirwadde ki COVID19, ebimu ku bintu bye baali baleka emabega byasanyeewo.
Owoyesigire yanyonyodde nga bwebaliko ebizibiti byebafunye mu kifo kino era nga batandise dda okunoonyereza okuzuula ekituufu ekyavuddeko omuliro guno.
Ensangi zino, amasomero naddala mu Buganda gazze gakwata omuliro nga agakyasembyeyo ye Gayaza High ne Namirembe Hillside High School.