URN
Omuliro
gukutte negusaanyaawo ebbajjiro mu kabuge ke Katabi ku luguudo lwe Entebbe ebintu ebibalirwamu
obukadde 150 nebisirikka. Ebbajjiro lino libaddemu entebe, ebitanda, emeeza n’ebintu
ebirala.
Edward Miiro, omu kabaafiriddwa ebintu byabwe yagambye nti amafuta gayinza
okuba gegaavuddeko omuliro guno ogwatandise ku ssaawa nga mukaaga ez’emisana. Ekitongole
kya poliisi ekizikiriza omuliro kyatuuse oluvanyuma lw’eddakiika nga 40, ng’omuliro
gwamaze dda okusaasaanira ekifo kyonna. Poliisi weyatuukidde ng’abatuuze
bagezaako okukoza buli kimu kyebasobola okuzikiza omuliro wabula nga ggo
gugenda bugenzi mumaaso.
Vianney Tensumulule, nannyina bajjiro lino yategeezezza nti essuubi lye okuddamu okukola liri mu kampuni ya nsuwa mweyali yawandiisa ebajjiro lye. Godfrey Mugerwa, ssentebe wa Kitala cell yasabye abatuuze okwegendereza biki byebateeka mumaduuka gaabwe.