Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Sheraton Hotel – Kampala
Ensimbi akawumbi kamu n’obukadde obukunukkiriza 32, zisondeddwa mu kijjulo ekitegekeddwa ku Sheraton Hotel mu Kampala okufuna ensimbi ez’okuzimba ekizimbe ekibbuddwa mu musumba omuddugavu omubereberye mu byafaayo bya keleziya mu Uganda ne Ssemazinga Africa, Joseph Kiwanuka, ki Archbishop Kiwanuka Memorial Centre e Kitovu mu Masska.

Mu kijjulo kino ensimbi 1,32,520,000bn zisondeddwa, ku zino enju y’omugenzi Sepiriya Mukasa Katikkiro mwasibuka ewaddeyo obukadde 5.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asinzidde wano n’atendereza obuweereza bw’omugenzi Bishop Joseph Kiwanuka, nti singa tebwali bwa muzinzi, abasumba abalala abaddugavu emirimo gyandibakaluubidde.

Agamba nti singa teyali Bishop Kiwanuka tetwanditegedde bajulizi ba Uganda, yeebazizza abasumba abatambulidde mu buwufu bwa Kiwanuka, nebasobola okuteekawo ebintu by’enkulaakulana ebigwana okumujjukira okuli; Amasomero, amalwaliro, emmwanyi, obwegassi, awonno abantu basaanye okukola ebyo bye basaanye okukola.
Omusumba we Masaka, Serverus Jjumba, yeebazizza bonna abawaddeyo ku lw’enkulaakulana eno.










