Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Omulangira David Kintu Wassajja akyomedde Gavumenti olwo butasoosowaza byabulamu ng’ezimba amalwaliro kyokka ssente n’ezimalira mu bintu ebigasa ekitono ng’okugulira ababaka emmotoka ez’obuwanana.
“Ensi ezikulaakulanye ozirambira mu kulabirira bantu baayo kuba ggwe bw’oba oli awo naye ng’ekikulu gy’oli kugula mmotoka mpya okusinga eddwaliro mu ndaba eyange ebintu oba obiraba kifulanenge, ne bw’onoofuna emmotoka ey’obukadde 600 naawe osobola okugwa ku kabenje ate ne bakuddusa mu ddwaliro omutali kantu.” Omulangira Wassajja bwe yagambye.
Bino Omulangira yabyogeredde mu Kampala ku mukolo gw’okusonda ensimbi ezigenda okuzimba eddwaliro erigenda okujjanjaba abagudde ku bubenje ku luguudo lw’e Masaka eggulo ku Lwokubiri, ne yennyamira olwa gavumenti okulemwa okuteeka amalwaliro agajjanjaba obukugu ku nguudo ennene ezifuluma ebibuga.
Wassajja yannyonnyodde nti enteekateeka eno yaakujuna buli omu era nga esaanye okwenyigirwamu abantu abawera naddala abakozesa oluguudo luno, baleme kukirekera Eklezia Katolika ne banna Rotary.
Musinyoori Charles Kasibante Vicar General w’essaza ekkulu erya Kampala yayanjudde enteekateeka n’agamba nti omulimu gw’eddwaliro lino gwetaaga ensimbi eziri mu buwumbi 8 n’okusoba kyokka nga baakafunako obukadde 750 zokka.
Kino kye kyawaliriza abanoonya ssente zino okutegeka emisinde gimubunabyalo era buli anagyetabamu ajja kusasula emitwalo 2 era bannalotale wamu n’abakulu mu Eklezia, wano we basinzidde ne babakunga okwetabamu basobole okuzimba eddwaliro lino.
Ye Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka mu ggwanga, Charles Ssebambulidde, yategeezezza nti abantu abasinga okufa olw’obubenje bafa lwa kubulwa bujjanjabi bwa mulembe mu bwangu kuba wano eddwaliro eririwo lya Gombe Hospital kyokka nga nalyo liri wala.
Emisinde gino gyakubaawo ku Lwomukaaga nga 3/07/2021 wali e Kayabwe mu kkooti era ensimbi ezinaavaamu zaakugattibwe ku ezo ezaakafunikawo okuzimba eddwaliro.