Bya Ssemakula John
Kampala
Omulangira David Kintu Wasajja asabye abazadde okukuliza abaana baabwe mu mpisa n’ennono kibasobozese okuyiga obuwangwa, basobole okubutambuliramu n’okubunyweza.
Obubaka buno abuwadde atikkula Amakula okuva ku munnasingo Dezelenta Namwanje mu Lubiri lwa Beene e Mmengo ku Lwokuna.
Omulangira Wasajja ategeezezza nti singa abaana bafiibwako ne bamanya obuwangwa bwabwe n’ennono, kijja kubayamba okufuuka aboomugaso mu nsi era babeere ekyokulabirako.
Omukyala ono Namwanje mutuuze mu ggombolola ya Mutuba III Bukomero mu Ssingo agambye nti azze kwebaza kuba oluvannyuma lw’okuteeka ekiragiro kya Kabaka mu nkola eky’okwenyigira mu bulimi okusobola okufuna emmere emala, atandise okuloza ku makungula era agamu ku go kwe kusalawo okugaleeta Embuga.
Mu ngeri yeemu Omulangira Wasajja yeebazizza Namwanje olwokufaayo okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’omuganda bw’akiise Embuga era n’asaba abantu abalala okumulabirako.
Ate ye Katikkiro w’Ebyalo bya Ssaabasajj, Omuk. Moses Luutu ategeezeza nti Namwanje ne Famire ye, kye bakoze kubadde kutuukiriza ennono era lyafuuka katala lyabwe.
Eyakulembeddemu Omukyala Namwanje, Omutaka Muteesaasira Keeya Tendo, mu bubaka bwe akalaatidde abazzukulu okuba abakozi ate n’okufaayo okumanya ensibuko yaabwe ne bibakwatako, kibayambe okugenda mu maaso.
Ye Omukwanaganya w’emirimu mu Nkuluze, Simon Ssenkaayi alaze obwennyamivu ku buwangwa n’ennnono ebiserebye nsangi zino naddala olulimi ky’agambye nti singa tekisalirwa magezi, ebyasa ebirijja byandifiirizibwa omukisa okutegeera obugagga obululimu .
Bano mu bintu bye bakiise nabyo Embuga mulimu; emmere, ebibala n’ebintu ebirala nga bino byonna biggyiddwa mu lusuku lwe yasimba oluvannyuma lw’ekiragiro kya Beene.