
Bya Ssemakula John
Kyaddondo
Omulangira David Kintu Wasajja akunze abantu ba Ssaabasajja bonna mu Buganda okwetaba mu nteekateeka ey’okugaba omusaayi basobole okudduukirira abagwetaaga era bamalewo ebbula lyagwo mu ggwanga.
Obubaka buno Omulangira Wasajja abuweeredde Kawempe ku Growers bw’abadde akulembeddemu abavuzi ba booda booda n’okutongoza okugaba omusaayi mu ssaza lya Kyaddondo ku Mmande.
Omulangira David kintu wasajja asinzidde ku mukolo guno nasaba gavumenti okutereeza omulimo gwa Booda Booda nadala mu Kampala kuba balina kinene kyebagatta ku nkulaakulana y’eggwanga.
Ono era akubirizza aba Booda Booda okugoberera amateeka g’ oku nguudo era balwanyise obubenje kuba kizuuliddwa nti obusinga babeera babulinamu omukono.
Omulangira Wasajja akuutidde abantu ba Ssaabasajja okujjumbira enteekateeka eno ey’okukung’aanya omusaayi egendereddwamu okutaasa obulamu bw’abantu.

Ate Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk . Kaggwa Ndagala ategeezezza nti eggwanga lifuna ekizibu ky’ebbula ly’omusaayi naddala mu biseera nga abayizi ku masomero ag’enjawulo bali mu biseera eby’oluwummula so nga ate bano bebasinga okugaba omusaayi.
Abakulembeze ba Booda Booda mu Kampala n’abakulembeze mu ggombolola y’e Kawempe beyanzizza Beene olw’okusiima nabo beetabe butereevu mu nteekateeka eno.
Enteekateeka eno ewagiddwa aba ekitongole ki Kabaka Foundation ne bannamikago okuli; Uganda Red Cross Society , Uganda Blood Transfusion Services , Radio ya CBS FM ne BBS Terefayina.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze ba Division ye Kawempe ab’enjawulo ,abakungu okuva e Mmengo awamu n’abantu ba bulijjo.









