• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omulangira Nakibinge alaze ebivaako ebizibu ku ttaka, asekeredde ab’ekwasa Mayiro

Gambuuze by Gambuuze
July 21, 2021
in Amawulire
0 0
0
Omulangira Nakibinge alaze ebivaako ebizibu ku ttaka, asekeredde ab’ekwasa Mayiro
0
SHARES
58
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya stephen kulubasi

Kibuli

Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga, Omulangira Kassim Nakibinge, agasse eddoboozi lye ku ly’Obwakabaka bwa Buganda n’awakanya ekya gavumenti okulowooza nti ekizibu ky’ettaka mu Uganda kiva ku ttaka lya  Mayiro.

Omulangira Nakibinge agamba nti kalumanywera ku ttaka ava ku abo abasengula abantu ku ttaka kyokka  nga bano be banene mu gavumenti ate eyagala okutereeza ensonga z’ettaka.

“Ekizibu ky’ettaka si mayiro, ekizibu be bantu abasengula bannaabwe ku ttaka. Toyinza kugamba nti ettaka lya Mayiro kye kizibu nga ne ku  Freehold kuliko emivuyo. Si buli alina ettaka lya Mayiro nti agoba abantu kuba abagoba abantu bali ku buli ttaka.” Omulangira Nakibinge.

Omulangira asabye wabeerengawo okukkaanya wakati wa nannyini ttaka n’omusenze mu kugonjoola ensonga z’ettaka.

Ono awadde eky’okulabirako nti abakulira omuzikiti gw’ekibuli bamaze abbanga nga balina abasenze ku ttaka naye nti bwe baatuuse okulikozesa baabasasudde ne bavaako mu ddembe.

Mu ngeri y’emu awakanyizza abalowooza nti buli alina ettaka lya Mayiro yalifuna ku bwereere n’alung’amya nti bangi baaligula ku ssente zaabwe. Ono obubaka bwe ku ttaka bukwataganye n’obwomumyuka wa Katikkiro asooka, Owek.Al-Hajji Dr Twaha Kawaase eyeetabwe mu kusaala kuno.

Owek. Kawaase asabye wabeerewo okuwuliziganya ku nsonga y’ettaka kubanga kya buwangwa ekikwata obutereevu ku bantu. Ono era asabye abakiise ba palamenti okukwata nsonga eno n’obwegendereza ate wakati mu kwebuuza.

Nakibinge Kakungulu  era  ayambalidde ab’ebyokwerinda olw’okukwata abasiraamu  ku buli lwewabaawo ebikolwa eby’obutujju mu ggwanga.

Nakibinge, bino yabyogeredde mu makage e Kibuli mu kugabula abasiraamu ku mukolo gwa Eid Aduhua n’asaba gavumenti okusooka okunoonyereza ku misango gy’obutujju era ekomye okugiteekanga ku basiraamu bokka.

“Mu mwezi gumu oguyise, obutujju bubadde bw’amaanyi, naye  ekisinga obubi nti ab’ebyokwerinda bakwata basiraamu. Simanyi lwaki abasiraamu be bokka abakwatibwa ku butujju.” Omulangira Nakibinge bwe yagambye.

Jjajja Nakibinge yalaze okunyolwa  ku ngeri abakwatibwa gye batulugunyiziddwamu kyokka buli lwe batwalibwa mu kkooti bayimbulwa olw’okubulwa obujulizi.

“Tusaba nti ku mulundi guno abasimbiddwa mu kkooti gunaabasinga era tulindiridde ensala ya kkooti olwo tubeeko okulambika kwe tuwa.  Kye tusobola okwebuuza kati kiri nti, kiki ekyatuuka ku buntu, abantu ne batandika okusalawo okukomya obulamu bwa bannaabwe.” Omulangira bwe yebuuzizza.

Nakibinge yasabye gavumenti eyongeze ku ssente z’ewa eby’obulamu ng’erabira ku mawanga agatuliraanye nga Kenya, abasobodde okutereeza eby’obulamu okwang’anga embeera ya Corona mu myezi mukaaga gyokka.

“Era ndowooza tulina obusobozi okukola ebintu mu ngeri ey’enjawulo, tutandikire ku ddwaliro ekkulu e Mulago olwo tuzzeeko amalwaliro mu bitundu ebyenjawulo naye bwe tutakola kino ne bwe tunaateekamu ssente mu makolero, nguudo n’ebirala, tebijja kutugasa nnyo. Tusaba eby’obulamu biweebwe enkizo.” Omulangira Nakibinge bwe yakkaatirizza.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.