Bya stephen kulubasi
Kibuli
Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga, Omulangira Kassim Nakibinge, agasse eddoboozi lye ku ly’Obwakabaka bwa Buganda n’awakanya ekya gavumenti okulowooza nti ekizibu ky’ettaka mu Uganda kiva ku ttaka lya Mayiro.
Omulangira Nakibinge agamba nti kalumanywera ku ttaka ava ku abo abasengula abantu ku ttaka kyokka nga bano be banene mu gavumenti ate eyagala okutereeza ensonga z’ettaka.
“Ekizibu ky’ettaka si mayiro, ekizibu be bantu abasengula bannaabwe ku ttaka. Toyinza kugamba nti ettaka lya Mayiro kye kizibu nga ne ku Freehold kuliko emivuyo. Si buli alina ettaka lya Mayiro nti agoba abantu kuba abagoba abantu bali ku buli ttaka.” Omulangira Nakibinge.
Omulangira asabye wabeerengawo okukkaanya wakati wa nannyini ttaka n’omusenze mu kugonjoola ensonga z’ettaka.
Ono awadde eky’okulabirako nti abakulira omuzikiti gw’ekibuli bamaze abbanga nga balina abasenze ku ttaka naye nti bwe baatuuse okulikozesa baabasasudde ne bavaako mu ddembe.
Mu ngeri y’emu awakanyizza abalowooza nti buli alina ettaka lya Mayiro yalifuna ku bwereere n’alung’amya nti bangi baaligula ku ssente zaabwe. Ono obubaka bwe ku ttaka bukwataganye n’obwomumyuka wa Katikkiro asooka, Owek.Al-Hajji Dr Twaha Kawaase eyeetabwe mu kusaala kuno.
Owek. Kawaase asabye wabeerewo okuwuliziganya ku nsonga y’ettaka kubanga kya buwangwa ekikwata obutereevu ku bantu. Ono era asabye abakiise ba palamenti okukwata nsonga eno n’obwegendereza ate wakati mu kwebuuza.
Nakibinge Kakungulu era ayambalidde ab’ebyokwerinda olw’okukwata abasiraamu ku buli lwewabaawo ebikolwa eby’obutujju mu ggwanga.
Nakibinge, bino yabyogeredde mu makage e Kibuli mu kugabula abasiraamu ku mukolo gwa Eid Aduhua n’asaba gavumenti okusooka okunoonyereza ku misango gy’obutujju era ekomye okugiteekanga ku basiraamu bokka.
“Mu mwezi gumu oguyise, obutujju bubadde bw’amaanyi, naye ekisinga obubi nti ab’ebyokwerinda bakwata basiraamu. Simanyi lwaki abasiraamu be bokka abakwatibwa ku butujju.” Omulangira Nakibinge bwe yagambye.
Jjajja Nakibinge yalaze okunyolwa ku ngeri abakwatibwa gye batulugunyiziddwamu kyokka buli lwe batwalibwa mu kkooti bayimbulwa olw’okubulwa obujulizi.
“Tusaba nti ku mulundi guno abasimbiddwa mu kkooti gunaabasinga era tulindiridde ensala ya kkooti olwo tubeeko okulambika kwe tuwa. Kye tusobola okwebuuza kati kiri nti, kiki ekyatuuka ku buntu, abantu ne batandika okusalawo okukomya obulamu bwa bannaabwe.” Omulangira bwe yebuuzizza.
Nakibinge yasabye gavumenti eyongeze ku ssente z’ewa eby’obulamu ng’erabira ku mawanga agatuliraanye nga Kenya, abasobodde okutereeza eby’obulamu okwang’anga embeera ya Corona mu myezi mukaaga gyokka.
“Era ndowooza tulina obusobozi okukola ebintu mu ngeri ey’enjawulo, tutandikire ku ddwaliro ekkulu e Mulago olwo tuzzeeko amalwaliro mu bitundu ebyenjawulo naye bwe tutakola kino ne bwe tunaateekamu ssente mu makolero, nguudo n’ebirala, tebijja kutugasa nnyo. Tusaba eby’obulamu biweebwe enkizo.” Omulangira Nakibinge bwe yakkaatirizza.