
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Omulangira Felix Muteesa asomoozezza abazadde okufaayo ennyo okukuuma nokulondoola abaana naddala mu luwummula luno oluwanvu lweboolekedde okwewala okuggwa mu bikemo nokuggyibwa ku mulamwa .
Okwogera bino , Omulangira Felix Muteesa abadde atikkula Bannasingo abavudde mu Mutuba V Kiganda naba Ssaabaddu Mateete okuva e Mawagola Amakula ga Ssaabasajja mu Lubiri e Mengo ku Lwokusatu.
Mu bubaka bwe, Omulangira Felix Muteesa alabudde abazadde , mu luwummula oluwanvu abayizi lwebatandise okubakuuma obutiribiri nokubasaako eriiso ejjojji baleme kutwalibwa bikemo ebinasanyawo ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Omulangira Muteesa era abakubiriza okukuuma obulamu bwabwe nga bettanira okwekebeza akawuka ka Mukenenya ng’obudde bukyali kuba ebiriwo biraga nti ekirwadde kino kizzeemu okweliisa enkuuli.

Ye Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu asabye Banna Mawogola okwongera okugoberera n’okussa mu nkola ebiragiro bya Ssaabasajja Kabaka Buganda okugenda mu maaso.
Abaami ba Sssaabasajja abakiise embuga baloopye ekizibu kya kibba ttaka nga ekimu ku bibasoomoza nga ne ttaka ly’Embuga abasaatuu tebalitaliza ekizingamya entambuza yemirimu.
Kyoka bano baweze okusigala nga baweereza Beene awatali kumutiiririra okulaba nga Buganda edda ku ntikko









