Bya Gerald Mulindwa
Ndaiga
Ssaabasajja Kabaka akungubagidde Omulangira Sebastian Kitayimbwa Mumiransanafu gwayogeddeko nga abadde omusajja omwesimbu ate eky’okulabirako eri abakulembeze abalala.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/1fc9cc8a-1a99-4092-980d-ded54a95914c-1024x683.jpg)
Omulangira nga yeyasitudde obubaka bwa Beene yasoose kutegeeza bakungubazi nti Ssaabasajja gyali alamula era nategeeza nti naye ku lulwe omugenzi abadde amumanyi bulungi
Mu bubaka bwe obwasomeddwa Omulangira David Wasajja e Ndaiga mu Mawogola ku Lwokuna, Kabaka yagambye nti:
“Abenju y’omugenzi omulangira Ssebastian Kitayimbwa e Ndaiga Ntete – Lwebitakuli Mawogola.
Bannaffe tuwulidde n’okusaalirwa kungi amawulire ag’okuseerera kwa mukadde wammwe era mukwano gwaffe owa namaddala Omulangira Kitayimbwa, Kitalo nnyo kitalo ddala!
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/08/e024a6c6-afdd-46df-a612-1f44fb9d2555-1024x512.jpg)
Obwakabaka Nnamulondo n’olulyo olulangira twegatta wamu nammwe okukungubagira omu ku bazira ab’omulembe guno abatono ababadde bakyaliwo. Newankubadde omugenzi afiridde mukiseera kizibu ekya COVID-19, Obwakabaka bujja kwetaba butereevu mu nteekateeka z’okumutereka e Ndaiga nga bweyalaama.
Omugenzi yatandika okuweereza obwakabaka nga muvubuka era ebitone bye byelagirawo nga mwemuli obuyiiya obwangu, obuvumu n’obwesigwa, embeera eyo yamusobozesa okulya essaza nga muvubuka. Mu ngeri yeemu ensi yonna emujjukira olw’ebyo byeyakola okutaasa Ssekabaka Muteesa II.
Mu mwaka gwa 2008, Omulangira twamulangirira nga omuzira wa Buganda era nasiimwa mubutongole. Okuva Obwakabaka lwebwaddizibwawo mu 1993 tubadde naye kumpi mu buli nsonga nga tugezaako okuzzaawo ekitibwa n’amaanyi ga Buganda, Omulangira byeyakolerera mu bulamu bwe.
Tubadde tuwuliziganya naye ebbanga lyonna era bweyali omulwadde yatutegeeza. Obulamu bw’omugenzi n’ebikolwa bye bitulaga bulungi nti omuntu yenna akuzibwa mu mpisa zaffe okusinziira ku nnono zaffe, asobola bulungi okutuukirizza obuvunaanyizibwa bwe obubeera bumukwasiddwa nebwaba nga akyali muvubuka.
Obwami n’obulangira tebyamulobera kubeera mwetowaze, muwulize era omukozi ennyo. Nebweyakula mu myaka yasigala ajjumbira okuweereza n’okwekulaakulanya wamu n’okuyamba abalala era awagidde emirimu gy’Obwakabaka ekiseera kyonna.
Omugenzi abadde kyakulabirako kirungi nnyo eri abakulembeze abalala, tumusaaliddwa nnyo.
Twebaza Katonda olw’obulamu bwe nebyo byonna byamukozesezza, twebaza omuzaana Nalwoga n’abaana bonna abajjanjabye mukadde waffe oyo ebbanga lyamaze mu bulwadde.
Tusaba Mukama atugumye ffenna mukiseera kino eky’obuyinike n’omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.