• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Omulangira Jjunju asabye abayivu okudda mu byalo bayambeko

Gambuuze by Gambuuze
June 10, 2021
in Agafa e Mengo
0 0
0
Omulangira Jjunju asabye abayivu okudda mu byalo bayambeko
0
SHARES
122
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubiri – Mmengo

Omulangira Crispin Jjunju asabye abantu ba Kabaka abayivu okuddayo mu bitundu gye basibuka okukozesa obuyivu bwabwe, obukugu n’obumanyirivu okuggya abantu ba Ssaabasajja mu bwavu bwe balimu ensangi zino nga batandikira gye bava.

Omulangira bino abyogedde atikkula Amakula ga Kabaka okuva eri abaaliko abayizi mu ssomero lya Buddo mu mwaka gwa 2005 abakiise Embuga n’Amakula ga bukadde 5,000,000 mu Lubiri lwa Kabaka e Mmengo.

“Nsaba mwe nga bannabuddo mukke wansi mu byalo gye muva muyambeko okukozesa amagezi gammwe okulaba nti enteekateeka z’Obwakabaka ez’ebyenkulaakulana abantu bammwe gye muva bazettanira n’okuziganyulwamu.” Omulangira Jjunju bw’agambye.

Omulangira Jjunju era abakubirizza bulijjo okunnyikiza ebyobuwangwa n’Ennono mu miti emito, basobole okukula nga bamanyi bulungi ensibuko yaabwe ate n’obutabityoboola.

Bano abaasomako n’Omulangira Crispin Jjunjju mu mwaka gwa 2005 ku Kings College Buddo, abakulembeddwamu Eng . Apollo Lwanga, basiimye Obwakabaka olw’okufaayo okutumbula embeera z’abantu nga bayita mu nteekateeka ez’enjawulo.

Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu, yeebazizza bannabuddo olw’omyo gwa Buganda ogutafa gwe boolesezza era asabye n’abalala okubayigirako.

Enteekateeka ey’okuleeta Amakula Embuga ebaawo buli Lwakuna era abantu ba Ssaabasajja bonna bakubirizibwa okujjumbira enteekateeka eno kubanga luno lwoya lwa mu nnyindo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist