
Bya Ssemakula John
Kibuli – Kyaddondo
Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge agamba nti Omulangira Daudi Golooba abadde muntu omwesimbu , ow’empisa era ayagala eggwanga lye.
Omulangira Nakibinge obubaka buno abuweeredde ku muzikiti e Kibuli mu Kampala ku Lwokubiri bwebabadde basaalira omulangira Golooba eyaseeredde ku Ssande ng’omukolo guno gukulidddwamu Sheikh Muhammad Galabuzi.
Mbuga Nakibinge annyonnyodde nti embeera y’obulamu bw’ Omulangira Golooba yatandika okukyuka oluvannyuma lw’okubula kwa muganda we Nasser gwe yali ayagala ennyo.
Nakibinge asinzidde wano naasaba abantu okulongoosa emirimu gyabwe nga bakyali ku nsi n’okuleka Omukululo nga bavudde mu bulamu bwensi .
Ye Katikkiro Charles Peter Mayiga yeeyanyizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi olw’okujjanjaba Omulangira Daudi Goloba mu kiseera wabweredde omulwadde.
Mukuumaddamula agambye nti Omulangira Golooba musajja nnyo ayagala eby’enkulakulana bwatyo neyebazza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi n’olulyo olulangira okutwalizza awamu olw’okujanjaba Omulangira waberedde Omulwadde .

Akulira eby’amateeka e Kibuli, Sheikh Abdul Hafizu Walusimbi yasoose okujjukizza abaddu ba Allah engeri gyebalina okweyisamu wakati mukugobeleera ebyawandikiibwa mu kitabo ekituvu ekya Quran n’okugobeleera enkola y’omubaka Nabbi Muhammad Okusasiira n’emirembe bibeere kuye.
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek Dr Twaha Kaawaase Kigongo , Omukubirizza W’olukiiko lwa Buganda Owek Patrick Luwaga Mugumbule , Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu owek Joseph Kawuki , Minisita ow’ebyebyobulamu n’ebyenjigirizza Owek Chotilda Nakate Kikomeko , ba Ssenkulu b’ebitongole eby’enjawulo mu Buganda n’abantu abalala.
Kitegeerekese nti Omulangira Daudi Goloba abadde yakasiramu emyaka ena emabega era oluvanyuma Omubiri gw’omugenzi gutwaliddwa neguterekebwa mu Masiri e Kasubi.