
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Omulangira Felix Muteesa asabye abakulembeze b’Obwakabaka okulekera awo okutabika eby’obufuuzi mu bukulembeze bwabwe kuba binafuya obukulembeze bwa Ssabasajja nebizza n’ abantu be emabega.
Okusaba kuno Omulangira Muteesa akukoze atikkula Amakula ga Beene okuva mu Ggombolola ya Mumyuka Nakawa mu Lubiri lwe Mengo ku Lwokusatu.
Omulangira ategeezezza nti Kabaka abantu be abaagala bali bumu nga singa ensonga z’ okubaweereza zeetabikamu ebyobufuzi waba wajja kubaawo enjawukana.
Ono ayongedde naavumirira obubbi obuli mu bakulembeze abamu naddala obubbi bw’ettaka n’emisolo,nagamba kino kyekimu ku bisibye empeereza embi mu ggwanga kubanga abali mu bifo banoonya kimu kwekkusa.

Ye Omumyuka oow’okubiri owa Kaggo Dr.Phionah Kalinda Nakalinda abasabye okusigala nga bali bumu okusobola okwanganga byonna ebiyinza okubasomooza.
Katikkiro w’ Ebyalo bya Kabaka, Moses Luutu abawabudde okukyusa ku nneyisa yaabwe nga babeera ekyokulabirako eri abantu bebakulembera era bafube okutambulira awamu n’ enteekateeka z’ Obwakabaka.
Omwami wa Kabaka owa Mumyuka Nakawa Ssaalongo James Ssekitoleko alaze okusomozebwa kwebalina mu Nakawa okubeera nga tebalina webakolera mirimu gya Kabaka bwatyo nasaba babafunire ekifo webayinza okukolera emirimu gyabwe kubanga kati webakolera bapangisaawo bupangisa.









