Bya Ssemakula John
Kampala
Omulamuzi Julia Ssebutinde, azzeemu okulondebwa ku kisanja ekyokubiri mu kkooti y’ensi yonna oluvannyuma lw’okumegga abalamuzi abalala bataano okuva mu mawanga ag’enjawulo.

Ssebutinde alondeddwa ekibiina ky’amawanga amagatte n’akakiiko k’ekibiina ky’ amawanga amagatte ak’ebyokwerinda (Security Council), ng’okulonda kwabadde kwa mirundi ebiri.
Ono yafunye obululu 139 mu lukontana olwokubiri n’awangula munnansi wa Rwanda eyafunye obululu 87 ate Nigeria n’eddirira n’obululu 31.
“Ndi musanyufu okulangirira okuddamu okulondebwa kw’Omulamuzi Julia Ssebutinde ku Kkooti y’ensi yonna,” Omubaka wa Uganda mu kibiina ky’amawanga amagatte, Adonia Ayebare, bwe yagambye ng’asinziira mu kibuga New York ekya Amerika.
Ayebare yalaze nti kya kitiibwa okukulemberamu kakuyege w’Omulamuzi Julia Ssebutinde okulaba ng’addamu okulondebwa ku kisanja ekyokubiri.
Omulamuzi Ssebutinde yasooka okulondebwa okubeera omu ku balamuzi ba kkooti eno mu mwaka gwa 2011 era nga ye mukyala eyasooka okuva mu Africa okutuula mu kkooti eno.
Ekisanja kya Ssebutinde ekisooka kibadde kirina kuggwaako mu mwaka gwa 2021 wabula nga ate balina okuddamu okulonda.
Eggwanga lya Rwanda omwaka oguwedde lyawaayo erinnya lya Dr. Emmanuel Ugirashebula, nga y’akulira kkooti ya East Africa avuganye ne Ssebutinde ku bukulu bwa kkooti eno etuula mu kibuga Hague.
Kigambubwa nti ekyawaliriza Rwanda okusindika Ugirashebula y’embeera eriwo wakati wa Uganda n’eggwanga lya Rwanda.
Mu kulonda kw’Olwokuna, Rwanda yafunye obululu 97 ekyabawadde enkizo naye olwokuba Uganda yafunye obululu 124 ate nga Nigeria yabadde efunye obululu 65, wategekeddwawo okulonda okwokubiri okuzuula eyabadde alina okutwala ekifo kino.
Mu kulonda okwokubiri, Rwanda yafiiriddwa obululu 10 era n’obululu bwa Nigeria ne bwesala 25 bulamba.
Akakiiko k’amawanga amagatte ak’ebyokwerinda kabadde kamaze okulondawo Uganda ku Rwanda ne Nigeria.