Musasi waffe
Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Wilson Kwesiga aganye okusaba kwa Gen. Henry Tumukunde okweyimirirwa.
Tumukunde yakwatibwa mu mwezi ogw’okusatu nga wakayitawo ennaku ntono nnyo nga ategeezezza eggwanga nti agenda kwesimbawo avuganye pulezidenti Museveni mu kulonda kwa 2020.
Omulamuzi Kwesiga yagambye abantu Tumukunde beyaleese okumweyimirira okuli Munnmagye eyagannyukka Maj. Gen. Mugisha Muntu, mukyalawe wamu ne mutabaniwe tabalina muzinzi nti era tabayinza kumuleeta mu kkooti singa ateereddwa.
Omulamuzi yawadde Tumukunde aleete bannamagye abali kuddalalye erya genero ate nga bakyali mu UPDF.
Kwesiga era yagambye Tumukunde nti olw’okuba tewali ntambula mu ggwanga olw’ekirwadde kya COVID-19 era kyabadde kizibu okumuta.
Yategeezezza nti ng’ekirwadde kya coronavirus kiwedde, Tumukunde addemu asaba okweyimirirwa buto.
Ono avunaanibwa kulya munsiye olukwe bweyasinziira ku mikutu gya leediyo ne Ttivi ez’enjawulo n’asaba eggwanga lya Rwanda okubayambako okujjako Museveni.
Ono era avunaanibwa mbu okusangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka.