Bya Ssemakula John
Kampala
Wabaddewo katemba mu kkooti Ensukkulumu leero ku Lwokuna, Omulamuzi wa kkooti eno, Esther Kisaakye omu ku balamuzi ababadde mu gwa Kyagulanyi bw’alumiriza Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo okuwamba fayiro ye omubadde ensala ye ekontana n’abalamuzi abalala.

Okusooka kkooti eno yasoose kuwa nsala yonna ku bujjuvu ku nsonga lwaki baagana okukkiriza Kyagulanyi okukola ennongoosereza mu mpaaba ye, okugaana obujulizi obuggya wamu n’okumukkiriza okuggyayo omusango.
Oluvannyuma lw’okusoma ensala abalamuzi okuli; Omulamuzi Ruby Opio Aweri, Ezekiel Muhanguzi ne Paul Mugamba, Ssaabalamuzi alagidde kkooti ewummulemu okumala eddaakiika 30 ng’omulamuzi Kisakye tannawa nsala ye.
Wayiseewo essaawa nga nnamba bannamateeka ku njuuyi zombi ne bayitibwa mu woofiisi ya Ssaabalamuzi.
Wano Omulamuzi Kisakye akomyewo mu kkooti okusoma ensala ye mu musango guno naye fayiro ye ebadde terabikako.
“Ndi wano okuwa ensala yange mu musango guno, Ssaabalamuzi n’abalala bwe tutuula mu kkooti eno bagaanye okubaawo nga nsala ensala yange mu ttuntu lya leero naye okusalawo kwabwe nkussaamu ekitiibwa. Naye ekisinga okunneewuunyisa fayiro yange yawambiddwa ab’ebyokwerinda ku biragiro bya Ssaabalamuzi.” Kisakye bw’agambye.
Omulamuzi Kisakye yazzeeyo mu woofiisi ze okunoonya fayiro erimu ensala ye era ajja kudda okuwa ensala ye mu musango guno.
Ate ye munnamateeka wa Kyagulanyi, Samuel Muyizi, oluvannyuma yategeezezza bannamawulire nti Ssaabalamuzi yabadde abategeezezza nti omusango gugenda kwongezebwayo.
Wabula Omulamuzi Kisakye yakomyewo n’asoma ensala ye ng’agiggya mu kkopi eyabadde eyokeddwamu era n’alemerako nti Ssaabalamuzi yabadde awambye fayiro ye.
Mu nsala ye, Omulamuzi Kisakye agambye nti akalulu kaabulamu amazima n’obwenkanya era akalulu keetaaga kuddibwamu. Wabula kino kikola amakulu matono kuba kkooti eno etuulako abalamuzi abawerera ddala 9 ensala y’abalala yo teraga bwetaavu bwakuddamu kalulu kano.