Bya Stephen Kulubasi
Masaka
Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka, Charles Yeteise, agaanye okukkiriza obululu bwa munnakibiina kya National Resistance Movement (NRM), Abdu Kiyimba, eyabadde yeesimbyewo e Kalungu West okuddamu okubalibwa.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/01/kiyimba-seruwagi.jpg)
Kiyimba nga y’abadde mmeeya wa ttawuni kkanso y’e Nsangi yaddukiddw mu kkooti nga yeemulugunya ku ngeri obululu bwe gye bwagattibwamu, olwokuba nti kino kyakolebwa mu nzikiza ate nga n’embeekuulo yali nnyingi ng’abantu bajaganya olw’ebyali bivudde mu kalulu ka pulezidenti.
Ono eyali ku kkaadi ya NRM, yafuna obululu 6,685 n’awangulwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Dr Twaha Kagabo n’obululu 8,883.
Omulamuzi Yeteise ategeezezza nti omuwaabi alemeddwa okukuba ebituli mu byalangiriddwa naye yeesiba ku kimu nti obudde bwali buzibye ate nga n’abantu baleekaana.
“Okuddamu okubala obululu si kya buwaze naye kisinziira ku bukakafu obubeera buteereddwa mu maaso ga kkooti. Nnemeddwa okulaba ensonga eyinza okuddisaamu akalulu kano okubalibwa.” Omulamuzi Yeteise bw’agambye.
Ono agasseeko nti okuddamu okubala obululu tekikolebwa nga bagenda kuvuba naye walina okubaawo obululu bw’ekitundu ekimu, omuwaabi bwe yeesibako era olw’okubulwa kino, bw’atyo omusango n’agugoba era n’alagira Kiyimba aliyirire Kagabo.
Munnamateeka wa Kiyimba, Steven Kalali, asoose kutegeeza kkooti nti obululu bwabalibwa mu nzikiza era ne bukyusibwa, ekintu ekyavaako omuntu we okufiirwa obuwanguzi.
Kiyimba abadde awakanya obululu obwava ku muzikiti e Kinoni, Bugagamanyi, Masjid, Bugagamanyi, St Joseph Primary School, Nakalembe, ku kisaawe e Kasana, Bigando Primary School, Omuzikiti gw’e Degeya awamu n’awalala.
Naye munnamateeka wa Kagabo, John Bagole, agambye nti ebirayiro ebibadde bireeteddwa ng’obujulizi bibadde bijudde obulimba kuba mu bifo ebisinga obululu bwabalibwa wakati wa ssaawa 10 n’ekitundu n’emu n’ekitundu.
Dr. Kagabo ayanirizza ensala ya kkooti n’agamba nti ebadde ya bwenkanya era n’ewanirira okusalawo kw’abantu be Bukoto South, abaamulonze.