
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abakulisitaayo mu bulabirizi bw’e Mukono okukwasizaako omulabirii omulonde, The Very Rev Can. Enos Kitto Kagodo asobole okutambuza obulungi obuvunaanyizibwa obuggya obwamuweereddwa.
Okusaba kuno, Mukuumaddamula Mayiga akukoledde mu nsisinkano gyabaddemu n’Omulabirizi ono bw’abadde akiise embuga n’okweyanjula nga agenda okuddira Rev. James William Ssebaggala mu bigere bweyawummudde emirimu.
Katikkiro Mayiga omulabirizi amusabye afube okulaba ng’ abantu ba Kabaka babeera balamu bulungi, bafuna ebyenjigiriza ate nebasobola okulwanyisa obwavu nga ayita mu kwongera okubakuuma nga bali bumu.
Kino kiddiridde Rev. Can. okulondeddwa olukiiko lw’ abalabirizi nga 18, Gatonnya 2023 era nga emikolo emikulu egy’ okumukwasa wofiisi mu butongole gya nga 26 February, 2023 ku lutikko e Mukono mu Ssaza Kyaggwe.
Era amusabye okukwasizaako Obwakabaka mu nteekateeka ez’enjawulo basobole okulaakulana kuba ebyafaayo biraze nti okulyowa emyoyo si kye kyokka ekiyamba abantu naye n’okubakubiriza okukola bakyuuse obulamu bwabwe.

Ye Omulabirizi omuggya, The Very Rev. Can. Enos Kitto Kagodo omulabirizi omulonde agamba nti agenda kukwatira wamu n’Obwakabaka okutumbula embeera zabantu mu ngeri y’okubakulaakulanya nokubazimba mu mwoyo nebirala.
Agasseeko nti wakwongera okukwatagana ne Buganda naye alaze obwenyamivu olwekibba ttaka mu bulabirizi buno kyokka agamba nti bagenda kwettanira nnyo okulima emmwanyi okusobola okukuuma ettaka okulitaasa ku batwazi.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu omumyuka owokubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda owek. Patrick Luwagga Mugumbule, abamu ku bakiise mu lukiiko lwa buganda, Omumyuka wa Ssekiboobo n’abakungu abalala.









