Bya Gerald Mulindwa
Namirembe
Omulabirizi we Namirembe, Wilberforce Kityo Luwalira, alabudde bannayuganda n’ebitongole ebikuumaddembe, ku lyanyi eriyitiridde ku njuyi zombi.
Entanda eno, Omulabirizi yagiweredde ku mukolo gw’okugatta muwala wa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Maria Nabankema Zizinga n’omwagalwa we Katongole Andrew, mu lutikko e Namirembe eggulo ku Lwomukaaga.
“Eryanyi eriyitiridde n’obukambwe obuyitiridde kyokka oluusi n’obukambwe nga buva ne mu ffe, kubanga ne mu bo abakuumaddembe mulimu abaakoseddwa. Kale nno Katonda atubeere okumanya nti effujjo erya buli ngeri, terireeta kalungi konna.” Omulabirizi Kityo bwe yagambye.
Luwalira yajjukiza abakuumaddembe omulimu gwabwe omukulu ogw’okukuuma bannayuganda n’ebyabwe n’abasaba okukendeeza ku bukambwe nga babagumbulula.
Omulabirizi Kityo yategeezezza nti obufumbo kikulu nnyo kuba buyamba abantu okukula ne bafuna obuvunaanyizibwa ne basobola okwezimba.
Abagole yabasabye okwekwata ku Katonda basobole okutambula obulungi mu bufumbo bwabwe.
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yasinzidde ku mukolo guno n’asiima Omulabirizi Luwalira olw’okugatta abagole bano era n’akulisa abagole olw’okumalirira ne beetwalira ekkula lino.
Owek. Mayiga yannyonnyodde nti ensi tetupimira ku ebyo bye twogera n’okusuubiza wabula tupimira ku ebyo bye tukola.
Mayiga yabakubirizza okwekwata ku Katonda basobole okunywera mu bufumbo bwabwe era beetegeere.
Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka wa Katikkiro owookubiri, Owek. Waggwa Nsibirwa, Minisita Henry Ssekabembe awamu n’abalala.
Katongole Andrew yagattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Maria Nabankema Zizinga.