• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omukulu w’ekika ky’ Endiga akyali Lwomwa Bbosa – Minisita Kyewalabye

Gambuuze by Gambuuze
November 7, 2022
in Amawulire
0 0
0
Omukulu w’ekika ky’ Endiga akyali Lwomwa Bbosa – Minisita Kyewalabye
0
SHARES
56
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Obwakabaka  bwa Buganda busazeewo eggoye ku babadde bakaayanira obukulu bw’ekika ky’ Endiga nebukakasa  Omutaka Lwomwa Bbosa Daniel okubeera omukulu w’ ekika omutuufu.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono mu Buganda,       Owek. David Kyewalabye Male  ategeezezza nti ensonga z’omusango guno zikyali wa Ssaabataka era ye yekka agenda okusalawo ekyenkomeredde.

Okusinziira ku Minisita Kyewalabye ensonga zino zakusigala nga bwezibadde era Lwomwa Bbosa Daniel gwebasuubira okukiika mu lukiiko lw’ Abataka.

Owek. Kyewalabye asabye ab’ekika ky’Endiga okusigala nga bakkakkamu n’okugumiikiriza okwewala okuwebuuka nokukola ebintu ebiyinza okuvaako okwawulayawula mu bazukulu.

Kinajjukirwa nti mu musango guno Kkooti ya kisekwa yali yalagira olunyiriri lwa Muyiisa okukola enteekateeka okuzuula Lwomwa era nga wakyasobola okubaawo okujjulira.

Kino kyaddiridde  Luggya Bbosa Tabula okuwaaba mu kkooti eno nga agamba nti Owessigga Ssekoba n’Owessigga lya Namusota bekobaana nebabulankanya obwa Lwomwa  era ono yaleeta obujulizi era kkooti eno nekaanya naye.

Ensala eno yali ewa omukisa abaali tebamatidde nayo okujulira mu wofiisi ya Ssaabataka mu nnaku asatu nabo kyebakola nebatuusa okujulira kwabwe nga 9/Sept/2022 ng’abasaba okusazaamu ensala eno wabula ensala ya Ssaabataka ku nsonga eno ebadde tenabaawo.

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa kiraga nti abaali bawaaba omusango bakola kikyamu okutandika okutegeka omukolo gw’okutuuza Lwomwa omuggya ku butaka e Mbaale nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka tanawa nsala ye ku kujjulira okwakolebwa abaali bawakanya ensala ya kkooti ya Kisekwa.

Ekiwandiiko era kirambulula nti era kyali kikyamu Ow’Olunyiriri lwa Muyiisa  okugenda mu maaso n’enteekateeka zino nga tanafuna kuddibwamu okuva ewa Katikkiro gweyali awandiikidde nga 26/08/2022.

Kitegeerekese nti singa Ssaabataka awa ensala era nga waliwo aba tamatidde basobola okuddamu okujulira ekiyitibwa okulinya mu nkanamu ensonga neziddamu okweneneenyezebwa Omutanda.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist