Bya Pauline Nanyonjo
Matugga – Kyaddondo
Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki akyaliddeko omuweereza wa laadiyo CBS era akulira ebibiina by’abawuliriza laadiyo eno ‘CBS funs club’, Mw. Male Busuulwa mu maka ge agasangibwa e Matugga mu Kyaddondo.
Male Busuulwa yalumbibwa obulwadde obwa mutuusa ne kussa ly’okulongosebwa kyokka mu ddwaaliro yasiibulwa bulungi, era obujjanjabi obusingawo abufuna ava waka.
Minisita Kawuki yebazizza Katonda eyamusobozesa okuyita ku kiso ng’agamba nti obulamu oluusi bubaamu okusoomoozebwa, kyokka okusaasira kwa Katonda kusobozesa abo babeera agezesezza okussuuka.

“Tusaasira Mw. Godfrey Male Busuulwa olw’obugonvu ate n’okumwebalizaako Katonda eyamusobozesa okuyita ku kiso ne tuba nga tuli naye tumulabako, kuba obulamu oluusi bulimu okusoomooza n’okwewunya kubanga ebbanga si ddene nga tukola emirimu ate nga agikola era nga mulamu mu mwezi ogwomunaana mwe twekenenyereza entambuza y’emirirmu mu Masaza kale omuntu gw’obadde naye bw’otegera nti alwadde obulwadde obwamutuusa okugenda ku kiso kikulaga nti bbwo obulamu Katonda asiima ne butambula nga bw’aba ayagadde kale kituwa obwetaavu bw’okwekebezaanga” Minisita Kawuki.
Oweek Kawuki alaze nti azzeemu essubi kuba omulwadde azzaamu amaanyi era alina essuubi nti Male Busuulwa wakuddamu okukola emirimu gya Ssabasajja Kabaka kubanga basaalirwa buli bwe bataba naye wabaawo eddibu mu Bwakabaka olw’entambuza ey’emirimu mu bitongole eby’enjawulo omuli CBS laadiyo, CBS fans club, mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu kwossa n’ebirala nga wano Minisita amusuubiza okwongera okumuweereza essaala.
Ye Godfrey Male Busuulwa asiimye nnyo Minisita Kawuki okumulambula n’okwagala abaweereza ku mitendera gyonna n’okubazzangamu amaanyi.









