![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/07/People-Power.jpg)
Musasi waffe
Poliisi erwanaganye n’abawagizi b’ekisinde kya People Power e Kamwokya omukka ogubalagala neguvaayo.
Entabwe eva ku kwagala kugumbulula bano abakungaanidde ku kitebe ky’ekibiina mu kaweefube w’okuwandiisa abo abaagala okwesimbawo.
Poliisi egamba nti okukunganya abantu kimenya ebiragiro bya gavumenti kukulwanyisa ekirwadde kya covid-19.
Omukka ogubalagala n’amazzi agasiiwa gaakubiddwa mu bawagizi ba People Power n’ekigendererwa ky’okubagumbulula wabula obwedda baddukako katono nebadda.
Sulaiman Kidandala omukunzi mu kisinde kino agamba Poliisi y’evaako obuzibu.
“Baleke abantu baanirize abantu baabwe abazze okukima empapula baleme ku bakubamu mukka gubalagala,kino tekyetaagisa,” Kidandala bweyategeezezza.