
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda busabye abazadde okulondoola ennyo abaana babwe mu luwummula lwebagendamu babatangire ku bintu ebisobola okubawugula nebibaggya ku mulamwa era bafeeyo nnyo ku baana babwe basobole okutuukiriza ebirooto byabwe.
Obubaka buno buweereddwa Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka, Omuk. Moses Luutu bwabadde atikkula Amakula ga Ssaabasajja agaleeteddwa Bannabusiro okuva mu ggombolola ya Mutuba III mu Lubiri e Mengo.

Omuk. Luutu asinzidde wano n’alabula bannayuganda nti mu kiseera ng’eggwanga lyolekera ennaku enkulu, babeere obulindaala ku bakyalakimpadde n’amalindirizi agatayagala kola ababaza okubba ebya bannabwe.
Akulembeddemu abantu bano, Omwami w’Eggombolola Mutuba III Namayumba, Nakiganda Lydia Jjemba ategeezeza nti nga beeyambisa ennyingo y’obumu basobodde bulungi okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe eri Nnamulondo era neyeeyama okwongera okunnyikiza obumu.








